Ekisaakaate kigenda mu maaso e Katende Mawokota

By Dickson Kulumba

Ekisaakaate kigenda mu maaso e Katende Mawokota

Hop1 350x210

EKISAAKAATE kya Nnabagereka eky’omulundi ogwa 13 kigenda mu maaso ku St. Joseph Of Nazareth e Kavule Katende mu ssaza ly’e Mawokota ng’abaana 450 abakyetabyemu bayigirizibwa okukola emirimu egitali gimu.

Abaana abakyetabyemu bali wakati w’emyaka mukaaga ne 18 nga basanyufu olw’okuweebwa omukisa gwebatafuna waka waabwe okukola emirimu egitali gimu ekintu ekibaviriddeko obutayiga kugikola.

Ku Lwokubiri abaana bano bakedde kuyigirizibwa engeri y’okweyonjaamu ng’omusomo guno gwakoleddwa abagunjuzi okuli Margaret Ssempala, Jane Kayanja ne Hassan Ssebuggwawo.

Ekisaakaate ky’Omulundi guno kitambulidde ku mulamwa ogugamba nti ‘OBuntu Bulamu: Mu Bikolwa Byange’ ng’abaana bayigirizibwa okwolesa obuntubulamu mu byonna byebakola okugeza mu kusoma, okwogera,okusuubula, obuyonjo n’ebirala.

“Katugambe mu kkoowe ly’obuyonjo tekibeera kya buntu bulamu obutanaaba notandika okuwunyirira bano, okutuula mu takisi ekyaziyazi nolemesa bano okutuula obulungi,toyagala kugabana kweebyo ebisomesebwa n’ebirala bwebityo. N’olwekyo twagala abaana bayige okwolesa obuntu bulamu mu byonna byebakola,” Mukyala Ssempala bweyategezezza.

Akulira Ekitongole Kya Nnabagereka Development Foundation, Andrew Adrian Mukiibi, agamba nti ng’ogyeeko abaana okuyigirizibwa okukola emirimu egy’enjawulo mu maka, basigibwamu omutima ogw’okukola emirimu egigasiza awamu abantu n’okubawa obukodyo obubayamba okwanganga obulamu bwensi.

 

Mukiibi akikatiriza nti enyingo z’obuntu bulamu zisosowazibwa nnyo mu kisaakaate kisobozese okubunyisa obuntubulamu mu ggwanga. Nnabagereka yatandikawo ekisaakaate ng’erimu ku makkubo ag’okuzza empisa, okutumbula eby’obulamu, n’okulakulanya abantu mu Uganda yonna.

Ate ku lwokubiria abaana basomesebwa ku nnimi zaabwe enzaliranwa nga babagazisa okuziwandiika,okuzisoma n’okuzoogera nga basomeseddwa Omutaka Wilson Ssentoogo. Eggulo ku Lwokusatu baasomeseddwa ku buwangwa bwaabwe. Ekisaakaate kino kyatandise nga January 5-19,2019 lwekinakomekkerezebwa.