BUKEDDE KU SSANDE YATUUSE DDA NG'ALIMU BINO

Nnamwandu wa Sheikh Kirya bamukutte. ISO emugguddeko emisango ebiri.

Nnamwandu wa Sheikh Kirya bamukutte. ISO emugguddeko emisango ebiri.

Omuvubuka akwatiddwa ng'adduka ku kisaawe ky'ennyonyi e Ntebe n'ayogera bwe yasse abawala ba yunivasite ababiri.

Tukulaze engeri emmaali ya Namanda, bba Kakaire gwe yattisa asidi bw'eweddewo. Byonna mu Bukedde ku Ssande.

Mulimu omusajja gwe bakutte n'ebyapa by'ettaka 100 ng'abinoonyeza akatale nga mulimu eby'omu Kampala, Wakiso, Kyebando n'awalala.

Mu Byemizannyo: Tukukubidde ttooki mu nsiike ya ManU ne Spurs aba Spurs nga beeswanta okuwa omutendesi wa ManU ow'ekiseera, Solskjaer ekigezo.