Dr. Stella Nyanzi alemedde e Luzira

By Musasi wa Bukedde

Dr. Stella Nyanzi ajeemedde ebiragiro bya kkooti bw’agaanye okulinnya bbaasi y’abasibe emuleeta ku kkooti nga bwe yali alagiddwa.

Nyanzi 350x210

BYA ALICE NAMUTEBI

“Looya wange yaŋŋaaanye,” bwe yategeezezza abaserikale b’amakomera, nabo ne bamuleka! Nyanzi yali alagiddwa akomezebwewo ku Lwokuna ew’omulamuzi Gladys Kamasanyu ku kkooti ya Buganda Road mu musango gw’okutyoboola Pulezidenti Museveni kyokka omulamuzi bwe yayise fayiro ya Nyanzi taliiwo, omuserikale w’amakomera ASP Fussy Brenda Abaasa n’ategeeza nti Stella Nyanzi yalemeddeyo.

Yannyonnyodde nti bwe yalemedde ku Nyanzi alinnye bbaasi kwe kumutegeeza nti tajja kugirinnya kubanga looya we yamugaanye.

Abaasa yategeezezza kkooti nti talina nsonga gy’amanyi eyavuddeko Nyanzi obutajja kubanga si mulwadde.

Kyokka looya wa Nyanzi, Isaac Ssemakadde yazze n’ebbaluwa gye yawadde omulamuzi ng’eva ew’omusawo wa Nyanzi ng’eraga nti yawadde Nyanzi amagezi aleme kudda mu kkooti mu musango ogumuvunaanibwa kubanga gumwongera situleesi ate nga yaakavaamu olubuto wiiki bbiri emabega.

Ssemakadde wano w’asinzidde okusaba omulamuzi Kamasanyu ayimirize okuwulira omusango gwa Nyanzi okutuusa ng’afunye obujjanjabi obuweebwa abakyala abavuddemu embuto.

Gye buvuddeko Nyanzi yategeeza kkooti nti yavaamu olubuto mu kkomera e Luzira kyokka abamukuuma ne badda mu kumukuba olwali nti yali yeesiize amazzi g’ennyaanya okutuusa lwe yazirika ne bakakasa nti ddala olubuto luvuddemu era olw’okukungubagira omwana we yasalawo okusalako enviiri.

Wabula looya wa gavumenti Janat Kitimbo ategeezezza omulamuzi Kamasanyu nti kano kakodyo ka Nyanzi ne looya we kulemesa musango kugenda mu maaso.

Omulamuzi Kamasanyu yagambye nti Nyanzi bwe yali yaakategeezebwa omusango ogumuvunaanibwa yamuwa omukisa asabe okweyimirirwa kyokka n’agaana nga kati mu kiseera kye kimu agamba nti obulamu bwe buli mu matigga mu kkomera e Luzira bukya avaamu olubuto.

Agambye nti kino kiraga nti bannamateeka be bamuwa amagezi amakyamu ag’obutajja mu kkooti.

Kamasanyu yagambye nti Nyanzi amuwadde omukisa omulala okweyanjula mu kkooti nga January 31, 2019 era bw’anaagaana ye ajja kugenda mu maaso n’omusango.

Nyanzi abadde e Luzira okuva nga November 2018 ku misango gy’okukozesa obubi yintaneeti bwe yaweereza Pulezidenti Museveni obubaka obumuyozaayooza okutuuka ku mazaalibwa kyokka ng’amuvuma ne nnyina omugenzi Esiteri Kokundeka.