Ebigezo by'abayizi 1,825 bikwatiddwa

By Kizito Musoke

Ebibuuzo by’abayizi 1825 ebyakwatiddwa mu ggwanga lyonna kuliko n’ebyamasomero amanene agamanyiddwa ennyo mu ggwanga.

Soma 350x210

Mu gaakwatiddwa kuliko; Uganda Martyrs HS Lubaga ery’omu Kampala be baakwatidde ebigezo bya bayizi 75.

Bilal Islamic School erye Kampala baabakwatidde 21.

Gonza S S mu disitulikiti ye Luuka baabakwatidde 129, Nyankwanzi H/S e Kyenjojo baabakwatidde 110.

Bufulubi S S e Mayuge (81), St. Albert S.S. Kakindo e Kakumiro (80), Hereigns SS e Tororo bali 80, Crane HS Kamuge e Pallisa ( 63), Seesa H S Mityana (52), Destiny S S Mparo e Hoima bali 50.

Nyero Ark PEAS HS e Kumi (45. Belegani S S e Bulambuli (44). Nnalinya Ndagire S S mu disitulikiti ye Kayunga (39). Township S S e Mityana ( 24), New Hope S S Nantabulirwa e Mukono (22), Lincoln H S Kabembe e Mukono ( 21).

Ssemu S S Jungwe e Mityana (19). St Michael International Wakiso ( 18), Njeru S S e Buikwe ( 16), Katende Progressive Voc S S (Mpigi) bali 14. Makerere Avanced S S e Mukono bali 11.