Abasumba abazze bafuna obuzibu

By Musasi wa Bukedde

Abasumba abazze bafuna obuzibu

Biz2 350x210

1 Paasita Paul Muwan ‘Kiwedde’ yakwatibwa mu Zimbabwe mu 2013 nga yasangibwa yeefudde Omusaserdooti enzaalwa ye Kenya. Oluvannyuma yasibibwa mu kkomera e Mutukula gye yatoloka ate oluvannyuma n’addamu n’akwatibwa.

Mu kiseera kino Kiwedde akyali mu kkomera e Mutukula ng’awerennemba n’emisango gy’okufera. June, 2016 omuwala

2 Shamirah Nalweyiso yaloopa Bishop Patrick Makumbi ow'e Kajjansi ng’amulumiriza okumusobyako. Kyokka kkooti oluvannyuma yamwejjeereza. Omusango guno gwamala ebbanga ddene nga maama n’omwana baatuuka n’okukwatibwa nga babalanga okwogera kalebule.

3 October, 2006 Paasita David Kiganda owa Christianity Life Centre mu Kisenyi yakwatira mukazi we Hadija Nasejje mu bwenzi n’omusiisi wa capati era ne baawukana. Kiganda yawasa omukazi omulala gwe yajja mu Zimbabwe era bateredde mu bufumbo.

4 May 30, 2018 abatuuze ku kyalo Kamaliba mu disitulikiti y'e Mpigi baavaayo ne beemulugunya ku Paasita Samuel Kakande nga bw'abagobaganya ku ttaka. Kakande yatuuka n’okuyitibwa mu kakiiko k’omulamuzi Catherine Bamugemereire nga bamulumiriza okusengula abantu n’okusenga mu ntobazi.

5 Mu 2003 Paasita Imelda Namutebi yagattibwa ne bba Tom Kula agambibwa nti yali yayanjulwa dda omukyala omulala Safinah. Bino byonna tebyalobera mbaga kubeerawo era bafumbo.

6 Mu July 30, 2018 omubaka wa Palamenti era omubuulizi w'enjiri ng'ayita mu nnyimba z'eddiini Judith Babirye yayanjula mubaka munne Sebulime Musoke (Lugazi Munisipaali) ekintu abamu kye baali bawakanya olw’okuba Babirye yali yagattibwa dda ne Samuel Niiwo.

Waaliwo n’omukazi Nnaalongo eyavaayo n’ategeeza nga Sebulime bwe yali bba era ye Ssaalongo we. Kino tekyalobera mukolo kugenda mu maaso era nga gwali gwa kitiibwa