Omukungu wa Kabaka alabudde abazadde abalagajjalira abaana

By Musasi wa Bukedde

Omukungu wa Kabaka alabudde abazadde abalagajjalira abaana

Fub2 350x210

MINISITA  w’abavubuka n’ebyemizannyo mu Buganda owek, Henry Ssekabembe asabye abazadde obuteekubagiza olw’eneeyisa y’abaana baabwe wabula naabakuutira okukolaganira awamu okubayamba nga batandikira ku ky’okubalaga ekifaananyi ekirungi ng’ empagi  okunyweza amaka gaabwe.

Bino Ssekabembe yabyogeredde ku mukolo ogw’okwanjula Ivan Musoke mu maka ga bakadde ba Diana Nabakka ogw'abadde gutegekeddwa e Katosi mwe yategeerezza  abazadde ku nsonga ezifudde abaana baabwe ba kyewaggula okwabadde obutafaayo kubawa budde bumala okubateekateeka obulungi, n’abamu okulowooleza ku ky’ensi okubatereeza nga bakuze.

"Guno omulembe tetugenda kugukaaba bukaabi,okwekubagiza yadde okwesaasira, ng’ abazadde tusaanye okusitukiramu okweyimirira abaana baffe nga tuyita mu kubabangula, n’okubagunjula basobole kutambulira mu kkubo eggolokofu. Twewale okukola ebikyamu mu maaso gaabwe kubanga ebyo bye bakoppa ne batuvumaganya nga bakuze. Ssekabembe bwe yagambye.

Ssekabembe yasabye bannauganda okuzaala omuwendo gw’abaana gwe basobola okulabirira n’okuweerera naddala ab’okubizinga, era n’abasaba okwegyamu n’enjogera ya buli mwana okujja n’emikisa gye,kye yayise obutamanya nga kye kisinze n’okuleetera eggwanga okutabanguka olw’obumenyi bw’amateeka okuyitirira nga n’abasinga okubwenyigiramu era abakwatibwa babeera baana bato ddala.