Empaka z’obubina ziwuuba minisita Godfrey Kiwanda

By Josephat Sseguya

MINISITA Godfrey Kiwanda empaka z’obubina zimuwuuba. Atuuse ne mu Bukedde ayongere okumatiza lwaki empaka zino zirina okubaawo.

Vumula1 350x210

Asisinkanye abakung'aanya n’abakozi ba Bukedde n’abategeeza nti empaka ezigenda okubaawo tezinoonya ba bubina bokka wabula abawala n’abakazi abaakula ffiga ennungi esikiriza omuntu okulabako.

Kiwanda eyakyadde mu Bukedde ku Mmande ku makya yasanyusizza abakozi be yayiseeyiseemu ng’abategeeza omulamwa gw’aliko n’agamba nti, waliwo abaamutegeera obubi ne bagamba nti abawala abanaawangula n’abanaavuganya bagenda kubakozesa ng’ekyobulambuzi.

Ekituufu kiri nti, abakyala bagenda kuyambako Uganda okumanyika olw’abakyala ababalagavu nga bwe kiri ku Miss Uganda wabula enjawulo eri nti, aba Miss Uganda batono mu sayizi ate ng’abagenda okuvuganya mu mpaka za Miss Curvy Uganda bagenda kuba bakyala bagimu. agambye nti ekyo kigenda kulaga abantu b’e Bulaaya nti tulina abantu ab’ebika eby’enjawulo omuli abatono n’abanene ate nga balina n’amagezi si ndabika yokka.

Minisita yabuuzizza nti olaba n’empaka za Miss Tourism zennyini ezironda omuwala akola ng’akabonero k’ebyobulambuzi mu Uganda tebamuteekawo Abazungu ne bamulambula anaawangula empaka z’obubina lwaki balowooza nti bagenda kumufuula kyabulambuzi!

Ku kya nnalulungi, Quinn Abenakyo okumukyusaamu ku bw’Ambasada bw’ebyobulambuzi mu Uganda ne kiweebwa Anita Fabiola yagambye nti, Uganda erina ba ambasada bangi abagitumbula omuli Abenakyo, Zari, Fabiola n’abalala abalina abantu abangi ababagoberera naddala ku mikutu gya yintanenti.

Mu bufunze Minisita agamba nti, abakyala abanene abalina obubina, zino empaka zaabwe kubanga baludde nga basaba nti nabo bafiibweko.

Annie Mungoma eyaleeta ekirowoozo ky’empaka z’obubina naye yakyaddeko mu Bukedde n’ategeeza nti empaka zino zitandikira ku bawala emyaka 18 okutuuka ku ba 35.

Yategeezezza nti, abaakeewandiisa bali 260 nga tebannatandika na kuzitongoza mu bitundu eby’enjawulo mu Uganda wabula olwazitongoza, abakazi basiiba beewandiisa.

Mungoma agamba nti ekintu kino yakiggya Nigeria gy’aludde nga bamuyita n’agendayo asale empaka z’obubina kyokka agenda okulaba ng’ate abeeyo si balungi n’obubina bwa Bannayuganda bwakula bulungi okusinga obwabwe.

Ekirala kye yazudde nti, abakyala abanene ab’obubina babasosola ky’ova olaba abataagala mpaka zino zibeewo we bali naye bajjukire nti n’abanene bantu.

Sayizi y’obubina obugenda okuvuganya bugenda kusinziira ku nkula naddala omukyala agyayo omulamwa gw’akabina akalina ‘curve’ oba akeewunda nga kajjudde ‘hips’ ate ogatteko okunyumira engoye n’amagezi g’olina kubanga wajja kubaawo okuddamu ebibuuzo.

Obwongo bwetaagisa kubanga wagenda kubaawo empaka za Miss curvy Afrika mu August w’omwaka guno ne Miss Curvy World omuwanguzi wa Uganda gy’agenda okuvuganya.

Agamba nti empaka zigenda kubaawo mu April wa 2019 ekibanyi kigwe n’amenvu.