Bassebo, abaserikale abo basusse okututulugunya

By Musasi wa Bukedde

Bassebo, abaserikale abo basusse okututulugunya

Kop2 350x210

ABAKUNGU okuva mu ofi isi ya Pulezidenti n’abakulembeze ba disitulikiti y’e Kiboga baawuniikiridde ng’abatuuze babalombojjera ennaku gye bayitamu engeri abaserikale ba poliisi gye babatulugunyamu ku nsonga z’ettaka. Baagambye nti poliisi naddala ey’omu ggombolola y’omu ddwaaniro ekolera bagagga bokka nga bbo abatuuze tekyabafaako.

Ku Lwokusatu, Judith Oroma okuva mu ofi isi ya Pulezidenti mu kitongole ky’amateeka yabadde ku kyalo Kyanamukadde mu ggombolola y’e Ddwaaniro okugoberera ensonga z’ettaka abatuuze ku byalo ebisukka mu 10 abasuliridde okugobwa abagagga.

DPC Ninsiima olwasituse okwogera, abatuuze ne bamungoola n’okumuwereekereza ebigambo ebisongovu ebirumiriza poliisi okubatulugunya. Omu ku batuuze, Christine Nakigudde yategeezezza nti olumu yaloopa omugagga ku poliisi olw’okubatulugunya kyokka ye ne mutabani we be baasibamu.

Abakulembeze mu disitulikiti y’e Kiboga abaakulembeddwamu RDC Mawulya baayisizza amateeka amakakali, agagenda okukendeeza ku bizibu by’ettaka ebyokusengula abantu omuli: okuyita abagagga bonna banjule ebyapa byabwe n’okwekenneenya engeri gye baabifunamu.

Mu ngeri yemu yagambye nti ettaka lyonna ery’olukale terigenda kuddamu kugabibwa kakiiko ka byattaka aka disitulikiti, okutuusa ng’ensonga zimaze okutereezebwa. Yagambye nti omugagga anaasitula abaserikale n’amagye okusengula abantu agenda kukwatibwa n’abaserikale be, bavunaanibwe mu kkooti z’amateeka