Awagidde eky’okusimbawo Museveni mu 2021

By Ahmed Mukiibi

SSENTEBE w’amatabi ga NRM agali ebweru wa Uganda, Al Haji Abbey Walusimbi awagidde ekyasaliddwaawo akakiiko ak’oku ntikko mu NRM aka Central Executive Committee (CEC) okusemba Pulezidenti Museveni addemu yeesimbewo ku bwapulezidenti mu 2021.

Dvq8ouzwkaakba8 350x210

Kino kyatuukiddwaako mu lusirika lwabwe olw’ennaku ettaano olwatudde mu Chobe Safari Lodge mu kkuumiro ly’ebisolo erya Murchison Falls National Park mu disitulikiti y’e Nwoya.

Olukiiko luno lwakubiriziddwa Pulezidenti Museveni mu kiti kye nga ssentebe wa NRM mu ggwanga nga lwetabyeko abakulembeze ba NRM ab’enjawulo.

Kino kitemyemu abantu bangi ng’abamu bakiwagira kyokka abalala naddala ab’oludda oluvuganya gavumenti bakivumirira.

Kyokka Haji Walusimbi yategeezezza nti bo nga Bannayuganda ababeera mu mawanga ag’ebweru baakisanyukidde kubanga Uganda ekyetaaga Pulezidenti Museveni okusobola okunyweza n’okukuuma ebituukiddwaako mu myaka 33 egy’obukulembeze bwe.