Abaakosebwa omugga Mayanja bayise ebya S6

By Peter Ssaava peter ssaava

Abayizi bano ababadde basomera mu Mende Kalema Memorial School mu disitulikiti y’e Wakiso baakosebwa omugga Mayanja mu November omwaka oguwedde mu kiseera we baakolera ebibuuzo.

Webmendekalemamemorialschool2 350x210

ABAYIZI abaakosebwa omugga Mayanja mu disitulikiti y’e Wakiso bayise ebibuuzo bya S6 ne beebaza Katonda olw’okubatuusa ku kyengera kino.

Abayizi bano ababadde basomera mu Mende Kalema Memorial School mu disitulikiti y’e Wakiso baakosebwa omugga Mayanja mu November omwaka oguwedde mu kiseera we baakolera ebibuuzo.

Omugga Mayanja gwawaguza ne gusalamu ekkubo abayizi ne balemererwa okutuuka ku ssomero.

Shamirah Nabbanja omu ku bayizi abaayise obulungi yategezezza nti baasanga obuzibu okutuuka ku ssomero okukola ebibuuzo olw’ekkubo lye baali bakozesa okutuuka mu budde amazzi bwe gaali galizibye.

Yategeezezza nti baakozesa amakubo g’omu byalo ewala nga baasimbulanga ku ssaawa 10:00 ng’obudde bukya ne batambula okugenda ku ssomero basobole okutuuka mu budde bwe balina okukoleramu ebibuuzo.

Kyokka baatuukanga bakooye naye kino tekyabalobedde kukola bulungi.

Baategeezezza nti baakola ebibuuzo mu nnaku kubanga abamu baafiirwa abantu baabwe abaatwalibwa amazzi wabula beebaza Katonda eyabasobozesezza okukola obulungi.

Avunaanyizibwa ku byenjigiriza ku ssomero lino, Ggayi Musa yategeezezza nti baatuuza abayizi 38 era bonna baayise bulungi.

Abamu ku bayizi abaayise ye; Justine Nakiyingi eyafunye 14 mu GEL/sub Maths , Shamirah Nabbanja eyafunye 14 mu BCM/ICT, Sandra Nabaleke eyafunye 10 mu DEG/sub Maths ne Richard Kiyingi eyafunye 13 mu BCM/ICT.