Omala azzizza omuliro ku kujinga empapula z’obuyigirize

By Benjamin Ssebaggala

Sam Omala eyeeyita ‘mukoddomi wa Buganda’ atabuse olw’okumussa ku lukalala lw’abaserikale abagambibwa nti baakozesa empapula enjingirire okuyingira poliisi.

20154largeimg217apr2015172002660703422703422 350x210

Abalagidde basooke banoonyereze ku baamuwandiika ng’ayingira poliisi.

Omala yategeezezza Bukedde nti, lwaki balinze ng’abuzaayo emyezi 10 awummule emirimu gya poliisi balyoke bafulumye ebintu ng’ebyo ebitategeerekeka.

“Bwe baba baagala kutunoonyerezaako bamanyi we batusanga bajje bakikole” Omala bwe yaggumizza mu ddoboozi ekkangufu.

Yagambye nti bye boogera wolokoso era ky’atayinza kukweka kye ky’okubeera nti yalangiridde dda nti agenda kuvuganya mu byobufuzi wabula mu kiseera kino akyali muserikale mu poliisi era tayinza kulaga ludda, langi wadde ekibiina kw’agenda okuvuganyiza.

Kiddiridde Poliisi okufulumya olukalala lwa boofiisa baayo 21 be banoonyerezaako ku by’okukozesa empapula z’obuyigirize enjingirire. Kuliko; abali ku madaala nga Assistant Commission of Police (ACP), Supretendat Of Police (SP), Assistant Supretendat Of Police (ASP).

Omala y’omu ku baabadde ku lukalala. Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga yategeezezza Bukedde nti ensonga zino zirina kukwasibwa kitongole kya CID kinoonyereze era bwe kinaamalirizza, akikulira ajja kuwa lipooti.