Muweerere abaana bammwe

By Musasi wa Bukedde

Amyuka akulira eggye lya UPDF ely'omu bbanga akubirizza abaserikale okuweerera abaana baabwe.

Airforce4web 350x210

 

Amyuka akulira eggye lya UPDf ly’omu bbanga, Javas Mugyenyi akubirizza abasirikale okuweerera abaana baabwe nabo basobole okubeera n’obulamu obulungi nga obwabwe bubanga mu baana bano mwe muli abakulembeze b’enkya .

Okwogera bino yabadde ku mukolo gw’okutimba ennyota  abasirikale b’eggye lya UPDF ery’omu bbanga 139 ku bano Lieutinant General yabadde 1 , Major General 1 ,Colonel 11 , Lieutinant Colonel 12, Major  39 , Captain 52, Lieutinant 19 ate Second Lieutinant 11.

Omukolo gwabadde ku kitebe kyabwe ekisangibwa e Bugonga mu kibuga ky’e Ntebe. 

Gwetabiddwaako omubaka w’e Ntebe, Rose Tumusiime , Amyuka omubaka wa gavumenti ow’e Ntebe Noor Njuki Mbabali n’abalala.

Ate Meeya w’e Ntebe, Vincent Kayanja yasabye abaserikale bano okufaayo ennyo eri abaana baabwe abasoma nga babawa ssente z’emmere. Yagambye nti abaana bangi basoma bubi nnyo mu masomero kubanga tebafaayo kubawa ssente za mmere ekibaleetera obutayita bigezo by'akamalirizo olw’enjala .