Ab'amagye e Kiwanga balabuddwa obutaddamu kukola bikwekweto nga tebakulembeddwaamu poliisi

By Musasi wa Bukedde

Ab'amagye abateekebwa ku kyalo ky'e Kiwanga balabuddwa obutaddamu kukola bikwekweto nga tebakulembeddwaamu poliisi. Balabuddwa okutereeza enkolagana yaabwe n'abakulembeze b'ebitundu n'abatuuze be baasanga ku kyalo.

Michaelmusaningayogeraeriabatuuzebokukyalokiwangargb 350x210

ADUUMIRA poliisi ya Kampala n’emiriraano, Michael Musani  yayisizza ebiragiro ebikakali eri ab’amagye abaatekebwa  ku kyalo ky’e Kiwanga mu munisipaali y’e Mukono obuttaddamu kukola bikwekweto nga tebakulembeddwaAmu poliisi, n’okukomya okugenda mu bifo ebisanyukirwamu mu byambalo byabwe.

Okubatabukira yabadde agenze kusisinkana abakulembeze n’abatuuze b’okukyalo kino mu lukiiko lw’ebyokwerinda olwabadde lutegekeddwa okutema empenda ku bwe bayinza okunyweza eby’okwerinda ku kyalo kino n’okuzza obuggya enkolagana wakati waabwe, n’ab’ebyokwerinda okuli ab’amagye ne poliisi okumanya obuvunaanyizibwa bwabwe.

Musani yagambye nti, okusinziira ku alipoota gy’azze afuna okuva mu byalo awaatekebwa ab’amagye, eraga nga bwe watali nkolagana nnungi wakati wa poliisi n’abamagye ekigootaanyizza embeera y’ebyokwerinda okudda mu nteeko nga kati buli omu akola nga bw’aba ayagadde ekitali kirungi,nga n’ebikolebwa byonna byonoona erinnya lyabwe eri abantu.

Yanenyezza akulira poliisi y’omu kitundu kino, Joshua Isaabirye olw’okukkirizanga ab’amagye okukwasaganya emirimu egyandibadde gikolebwa poliisi ekivaako oluusi okukola ensobi n’amusaba okufuba okulaba nga batereeza enkolagana wakati waabwe nga bw’analemererwa,waakubaggyawo aleete abanaasobola okukola.

Ssentebe w’ekyalo kino, Richard Lugoloobi yasuubizza okukolaganira awamu n’abebyokwerinda okumalawo obukuubagano wakati waabwe n’abatuuze b’okukyalo kino wabula n’asaba abatuuze okukwatira awamu okulaba nga bamalawo obumenyi bw’amateeka obweyongera buli olukya ku kyalo kyabwe.

“Nsaba buli muntu okubeera mbega wa munne tusobole okumalawo obuzzi bw’emisango naddala obubbi mu kitundu kyaffe. Mutukozese ng’ abakulembeze nga mutuloopera buli gwe mubeera mwekengedde olwo lwe tunaasobola okumalawo embeera eno.