Abaana bano baani?

By Musasi wa Bukedde

Poliisi e Mukono etubidde n’abaana bakiggala babiri

Fibiasookakuddyonemunnepoliisiyemukonobetubiddenabo 350x210

BYA ERIC YIGA

POLIISI  e Mukono eriko abaana bakiggala babiri b'etubidde nabo kati
omwezi mulamba.

Abaana bombi bawala nga bateeberezebwa okuba wakati w'emyaka 10-12.

Amyuka avunaanyizibwa ku nsonga z’abaana n’amaka ku poliisi eno Stellah Esaet agamba nti omu asobola okuwandiika erinnya lye elya Fibi
ng’ono yabulira ku kkanisa e Seeta. 

Omwana owookubiri tasobola kuwandiika nga yalondebwa Namanve okumpi ne kkampuni ya Coca Cola.