Bannayuganda abaali bakolera e Juba bagudde mu bintu

By Muwanga Kakooza

Bannayuganda abaali bakolera e Juba bagudde mu bintu

Dot2 350x210

GAVUMENTI ekkirizza okusasula abasuubuzi Bannayuganda abakolera mu South Sudan abaagaguza amakkampuni g’omu ggwanga eryo ebintu ebitali bimu kyokka ne batasasulwa oluvannyuma lw’olutalo okubalukawo mu ggwanga eryo.

Olukiiko lwa baminisita ba Uganda olwatudde ku Mmande lwakanyizza  ku kya gavumenti okuliyirira abasuubuzi abawayo ebyamaguzi byabwe ne batasasula ng’eggwanga eryo litabanguse.

Abasuubuzi babanja ensimbi eziri mu buwumbi nga 150 olw’ebintu byabwe bye bafiirwa ng’olutalo lubaluseewo mu 2013 e South Sudan bwe batasasulwa. Ebintu bye baawa e South Sudan byali bibalirirwamu obukadde bwa doola nga 56 kyokka basasulwako 15 zokka nga 41 zikyabulayo.

Omwogezi wa gavument Ofwono Opondo yagambye nti minisitule y’ebyensimbi yabadde egenda kutangaaza ku ngeri abasuubuzi gye bagenda okusasulwamu. Amawanga gombi gakaanya nti Uganda esasule abasuubuzi bano n’oluvannyuma South Sudan bweriterera esasule gavumenti ya Uganda ebbanja lino.