Abasuubuzi batiisizza okuwaabira Gavumenti olw'obutabafaako nga Drake Lubega abasaba ssente ezitakkirizika

By Moses Kigongo

Abasuubuzi batiisizza okuwaabira Gavumenti olw'obutabafaako nga Drake Lubega abasaba ssente ezitakkirizika

Lip2 350x210

ABASUUBUZI batiisizza okuwawabira gavumenti mu kooti singa teveeyo kunsonga z’ omugagga Drake Lubega ayagala okubasasuza ssente ze mirundi ebiri ku kizimbe kya Qualicel Bus Terminal.

Mu ntekateeka eno(eyokuwawabira gavumenti) abasuubuzi era bakanyiza n’okuwawabira Drake Lubega gwe balumiriza okubasaba ssente ezitali mu mateeka ng’ayita mu kubatisatiisa n’okwagala okubasibirawo amaduuka gabwe.

Bino byabituukiddeko mu lukiiko olw’ebbugumu olwatudde ku kizimbe kya Tripple 888 ku Mande akawungeezi n’ekigendererwa ky’okutegeeza ebitongole byokwerinda ebyakiikiridwa Ronald Wotwali (akulira Poliisi ya CPS) kungeri  entuufu gye bagenda okukwatamu ensonga z’okuwakanya ebiragiro bya Drake Lubega omuli; ekyokubasasuza ssente z’obupangisa ez’emirundi ebiri nga bayita mu kwekalakasa okw’emirembe wamu n’okutema  empenda ku kinaddako singa gavumenti enebeera tevudeyo kumukomako mu bwangu.

Era wano abasuubuzi we bakanyiriza okusookera ku kyokutwala gavumenti mu kooti olwa kye bayise okuwa abagagga okuli Drake Lubega,Mansur Matovu Yanga n’omugenzi Charles Muhang obukuumi okuli Poliisi ne Miltary ng’ate balumirizibwa okubanyagako ensimbi zabwe mu lukujukujju nga bayita mu kubasasuza ssente z’obupangisa n’okwewandiisa ku bizimbe byabwe buli mulundi lwe wabadengawo okuwamba n’okukyuusa obukulembeze bwayo.

“Tutandise entekateeka y’okuwawabira gavumenti mu kooti olw’okwesulrayo ogwanagamba ng’abasuubuzi banyigirizibwa mu kifo kya Qualicel kubanga yemu eyawerekera ekiwayi kya Muhangi ng’eri n’ebitongole byayo ebyokwerinda okuli; poliisi n’amagye okugenda mu kifo kino okukyeddiza ate kati yemu era eyawerekedde n’ekya  Drake Lubega nga yeyambisa ebitongole bye bimu okuddamu okukimuwambako”,bwatyo Hussein Kato akulira ekibiina ky’abasuubuzi abakolera mu akeedi z’omu Kampala ekya KAAFO bwe yategeezeza wakati mu busungu ng’ali mu lukiiko luno.

Mu lukiiko lwe lumu abasuubuzi bakanyiza ku kyobutaggalawo madduuka gabwe nga bagamba nti kabaleke Drake yennyini agabaggalirewo ng’agezaako okubakka okumusasula ssente ezimenya amateeka balyoke bamulageko nga bayita mu kumenya kufulu ze oba enjegere zanabeera agataddeko.