Ebya Rwanda: Baakumala emyezi ebiri nga baggadde ensalo

By Musasi wa Bukedde

RWANDA egambye nti eky’okuggala ensalo e Katuna kigenda kumala emyezi ebiri era tekisaanidde kutabulwatabulwa n’obutakkaanya bwe balina ne Uganda obuva ku kutulugunya bannansi baabwe, okusirikira ababayeekera n’okudobonkanya ebyenfuna yaayo.

Unity 350x210

Obutakkaanya bw’amawanga gombi bwatuuse ne mu Palamenti ya Uganda eggulo ababaka ne beesala akajegere nga baagala Gavumenti ya kuno ennyonnyole obuzibu bw’erina ne Rwanda.

Sipiika Rebecca Kadaga naye n’alya mu ttama ng’agamba Katikkiro wa Uganda Dr. Ruhakana Rugunda okujja mu Palamenti ku Lwokuna annyonnyole ababaka ekigenda mu maaso.

Omumyuka asooka owa Katikkiro Gen. Moses Ali yagambye nti Gavumenti ekyakung'aanya amawulire ejje etegeeza Palamenti ekituufu.

Ye Minisita w’ensonga z’ebweru e Rwanda Dr. Richard Sezibera yagambye bannamawulire e Kigali eggulo, nti eby’okuggalwa kw’ensalo y’e Katuna tebisaanidde kutabulwamu bintu birala Rwanda by’evunaana Uganda.

“Oluguudo lw’e Katuna luliko obuzibu kuba lufunda era lukolebwa ng’okulumaliriza kusuubira kubaawo mu May w’omwaka guno”, Sezibera bwe yagambye n’ayongerako nti kino kye kyakyusizza biroole okubiggya e Katuna ne biragirwa okuyitira e Kyanika n’e Kakitumba.

Wabula nga kino tekisaanidde kutabikibwamu bya Uganda kutulugunya bannansi b’e Rwanda, okubakwata, okubaggalira olumu n’okubattikka n’ebazzaayo wamu n’okusirikira abayeekera eggwanga n’okuwamba ebyamaguzi byayo ebirudde nga byogerwako.

Eggulo we bwazibidde ensalo z’e Mirima zokka ze zaabadde zikolako akatono. Omusasi waffe eyatuuse mu kitundu kino ku ssaawa 6:00 ez’emisana teyalabye ku bbaasi eva Rwanda n’emu ng’ereeta basaabaze mu Uganda.

Tuleera ne loole ezeetisse amatooke, obuwunga, emiyembe n’ebirala ebyokulya okuva mu Uganda byabadde tebikkirizibwa kusala kuyingira Rwanda.

Ebimotoka byokka ebyetisse seminti, emitayimbwa n’ebirala ebitali byakulya bye byabadde bisala okuyingira e Rwanda kyokka nga nabyo bikolebwako kasoobo.

N’obugaali maanyi ga kifuba olumu obusaza amatooke n’ebyokulya ebitonotono tebikkirizibwa kati. Akatawuni k’e Mirama konna kaabadde tekaliimu bulamu.