Bafunye ssente z'okwekulaakulanya

By Musasi wa Bukedde

OMUBAKA wa Mawokota South, John Bosco Lubyayi awadde abavuzi ba bboodabooda ppikippiki ez’okukozesa basobole okwekulaakulanya.

Panga 350x210

Yabakubirizza okukolagana n’abeebyokwerinda okusobola okulwanyisa ababbi abazibanyagako.

Abaaganyuddwa be bakolera ku siteegi y’e Kayabwe mu Mpigi nga yabakubirizza okuzikozesa obulungi okusobola okufuna amagoba agawera bagule n’endala.

Bboodabooda yazikwasizza ssentebe waabwe Harunah Kiggundu eyasiimye omubaka Lubyayi olw’okubawa ppiki ppiki ezigenda okubayamba okwekulaakulanya n’agamba nti kano kaboneero akalaga omuntu ayagaliza abantu b’akulembera.