'Obuyambi Gavumenti bw'ewa eddwaaliro ly'e Naggalama tebumala'

By STEVEN MUSOKE

Yagambye nti eddwaaliro lino liyamba abantu bangi mu disitulikiti ssaako n’abo abakozesa oluguudo lw’e Bugerere naye obuyambi Gavumenti bw’ebawa butono ddala.

Webnaggalama 350x210

AKULIRA eddwaaliro lya Naggalama, Sr. Jane Francis Nakafeero asabye Gavumenti okubongera obuyambi bw’ebawa kubanga obwetaavu bwe balina bweyongedde.

Sr. Jane Francis yabadde mu Colline Hotel e Mukono ku mukolo aba Rotary Club kwe baamukwasirizza engule n’ebirabo okumusiima ng’omuweereza asukkulumye ku balala.

Yagambye nti eddwaaliro lino liyamba abantu bangi mu disitulikiti ssaako  n’abo abakozesa oluguudo lw’e Bugerere naye obuyambi Gavumenti bw’ebawa butono ddala.

Yagambye nti balina abakozi 152 be basasula omusaala nga n’omuwendo gw’abantu abagendayo okufuna obujjanjabi  gweyongedde okugeza aba sikoseero beeyongedde nga kati balina abaana 400.