Kati tukuba bbulooka okwebeezaawo

Kati tukuba bbulooka okwebeezaawo

Amazzi nga gajjudde ku Lufuka ku Life Church oluvannyuma lw'enkuba okutonnya.kati tuli bakugu mu mulimu gwaffe. Buli bbulooka eyidde tugitunda 180 nga bwe tukuba bbulooka okugezza 15,000 ne tuzitunda ssente ezivaamu tusooka ne tutoolako kapito ow'okugula enku n'ebintu ebiala ebikozesebwa ng'okwongera ku butiba n'ebirala.

Ezisigaddewo tuzigabana kyenkanyi buli mukyala asobola okufuna 400,000/- oba 500,000/- okusinziira ku ssente ezibaawo nga kino tukikola oluvannyuma lw'omwezi. Tusobodde okukwata ku bakyala bannaffe ne tubayigiriza era n'abalala tubaaniriza. Mu kibiina kyaffe tulinamu abawala abato okuva ku myaka 20 ssaako abakazi abakulu naye ffenna tussa kimu. Mu kirombe gye tukubira bbulooka tupangisaayo nga buli mwezi tusasula 60,000/-

. EMITENDERA GYE TUYITAM U OKUKUBA BBULOOKA

Ettaka erikuba bbulooka tulitema ne tulibikka okumala wiiki nnamba ne tulyoka tutandikaokufulumya bbulooka. Bbulooka ng'emaze okukubwa omusana bwe gubeera omungi enkeera tuzisitula ne tuzibikka ebisubi zireme kwatika, naye okw'enkuba kiyinza okutwala ennaku esatu nga tetunnazibikka.

Abantu bataano nga kye bakola bakyagala mu wiiki bbiri oba ssatu baba bakubye bbulooka 10,000. Mu wiiki eyookuna mubeera musobola okupanga tanuulu ne mugookya. Bwe mukumamu omuliro ku ssaawa 12 akawungeezi, enkeera ku ssaawa mukaaga ez'emisana zibeera ziyidde, awo oziwaamu ennatu ssatu okuwola nga mujjula.

AMAT EEKA Amateeka agafuga ekibiina kyaffe mulimu:

1 Okwewala olugambo n'okugeya.

2 Teri kunywa mwenge mu ssaawa ya kukola.

3 Okumala ennaku ssatu nga tokola ate nga toli mulwadde obonerezebwa.

4 Tulina akakiiko akagula ebikozesebwa okwokya bbulooka

5 Tulina akakiiko akatunda bulooka nga ziwedde okwokya.

6 Tulina akakiiko akalabirira enkola y'emirimu ku buli mmemba.

7 Tulina n'olukiiko olutufuga ffenna.

OKUSOOMOOZ EBWA

1 Enku ziri ku buseere nga mmotoka ya ELF ennene tugigula 800,000/- kyokka oluusi ne zitamala.

2 Mu biseera by'enkuba tuyisibwa bubi kuba bbulooka ziba tezisobola kukala mu budde, ezimu zoonooneka ne tujulira kuddamu kukuba ndala. 3 Waliwo bbulooka lwe zitusiriirako ne tufiirwa.

4 Ssente si za buli lunaku, waliwo lw'obeera n'ekyetaago naye nga mulina kulinda kutunda bbulooka.

AKATAL E Akatale ka bbulooka tukalina era bakasitoma bangi nga be basinze n'okutwagazisa omulimu guno kuba tanuulu ng'eyidde temalaawo wiiki nga tebannazigula.