Kifeesi akanda abantu ssente bamukutte

By Peter Ssaava peter ssaava

KIFEESI akanda abantu ssente ng'abatiisatiisa okubatuusako obulabe poliisi emukutte n'emuggulako emisango gy'okufuna ssente mu lukujukukuju.

POLIISI y’e Nabweru ekutte neggalira kifeesi lwa kukanda bantu ssente ku kifuba nga bw’abatiisatiisa okubatuusako obulabe.

Ashiraf Ssekanjako 20, kifeesi mu kibiina kya “Dog Tulumbe” e Nabweru- Kibwa yakwatiddwa oluvannyuma lw’abantu abawera munaana okuli Faith Ogam ne Innocent Kayita omusawo okwekubira enduula ku poliisi nti abakanda ssente n’okubatiisa okubatta.

Yagulwako omusango ku SD REF 31/01/03/19 era omuyiggo ne gutandika. Omuduumizi wa poliisi yategeezezza nti, Ssekanjako yaguddwaako emisango gy’okunoonya ssente mu lukujukuju.