Obutamanya Kompyuta kulemesezza abakulembeze okulangirira eby'obuggagga bwabwe - Lokodo

By Muwanga Kakooza

MINISITA w’okukwasisa empisa Faaza Simon Lokodo agambye nti abantu abali mu bifo by’obukulembeze n’abakozi ba gavumenti obutamanya kukozesa kompyuta kye kibalemesezza okulangirira eby’obuggagga bwabwe.

Frsimonlokodo 350x210

Etteeka liragira abali mu bifo by’obukulembeze mu gavumenti okulangirira eby’obuggagga bwaabwe eri kaliisoliiso wa gavumenti buli mwaka, kyokka Lokodo agamba nti obutamanya kukozesa kompyuta kireese akabaate.

‘’Abakulembeze abamu tebalina e mail ezeetagisa okukozesa okulangirira eby’obugagga bwabwe eri kaliisoliiso wa gavumenti Lokodo’’ bwe yagambye.

 Yagambye nti amateeka amapya ku kulangirira eby’obuggagga geetagisa abakikola okulaga endaga muntu yabwe,n’ennamba kwe basasulira omusolo (TIN). Lokodo bino yabyogedde ali mu disitulikiti y’e Mororo ng’atongoza enkola y’abakozi ba gavumenti n’abali mu bifo by’obukulembeze okulangirira eby’obuggagga bwabwe eri Kaliisoliiso wa gavumenti nga beeyambisa kompyuta. Era yakubiriza abakulembeze okuyiga kompyuta.

Yagambye nti ofiisi ya Kaliisoliiso wa gavumenti etandise kawefube w’okulaba ng’ebifo omubeera kompyuta bibunyisibwa mu byalo. Lokodo yakubirizza abali mu bifo by’obukulembeze okulangirira eby’obuggagga bwabwe ka bibe mu mannya gaabwe, g’abalala oba g’amakkampuni gaabwe.

Yalabudde nti okulangirira eby’obuggagga okw’obulimba kirina ebibonerezo. Yasabye abantu okulwanyisa obuli bw’enguzi n’okukozesa obubi ebintu bya gavumenti.

Omumyuka w’akulira ofiisi ya kaliisoliiso wa gavumenti, George Bamugemereire, yagambye nti pulojekiti za gavumenti abantu balemwa okuzifunamu olw’okuba abakulembeze balemererwa okuzirondoola.