Kasirye Ggwanga asekeredde aba People Power

By Musasi wa Bukedde

Maj. Gen. Kasirye Ggwanga taggwayo ng’enjogera y’ennaku zino bwegamba! Ono ku Lwokbiri yagenze ku kyalo Munkene mu ggombolola y’e Maanyi awali faamu ye gye yatuuma Camp Davis 2, n'akuba olukung'ana mwe yategeerezza abatuuze nti ayagala bonna beenyigire mu by’obulimi ebivaamu ensimbi era n’akakasa nti agenda ku bayamba.

Laba 350x210

Ono era yabalabudde nti mu kulonda okujja bakyuse n’omubaka wa Busujju kubanga aliyo tamulabamu buweereza bulungi.

Mu kiseera kino Busujju ekikirirwa David Lukyamuzi Kalwanga atayina kibiina.

Wabula Kalwanga azze talaga ludda lukakafu lwagwako, nga oluusi alaga ng’ali mu kiwendo kya peole Power, so nga olulala alaga taliiyo nga ku NRM.

“Njagala okulaba ebyobulimi ebivaamu ssente ebiri ku mulembe era nsobola okubakwatizaako nga mbawa tulakita ezomulembe,” bwatyo bweyanyonyodde.

Kasirye Ggwanga, yaliko ssentebe wa disitulikiti y’e Mubende nga Mityana ne Kassanda tezinakutulwako, yagambye nti akakasa nti ssinga abantu bonna e Busujju benyigira mu byobulimi, basobola okwongera okubeera obulungi.

Asekeredde aba People Power Kasirye yasekerede n’ab’ekisinde kya ‘PEOPLE POWER’ n’agamba nti mu kiseera kino bamalira bantu budde, ng’abantu kye beetaaga ze ssente.

“Power ze ssente. Kati bwoyimba power ng’abantu tebalina ssente oba obamalira budde.

Nze sikyayina kyenetaaga, nakafuna n’akasiimo, kanyambe abantu baffe,” bwatyo bwe yagambye.