Akakiiko kalongoose ku ngeri gye kakwatamu abakenuzi

By Musasi wa Bukedde

ABAKULEMBEZE b’ekibiina ekigatta disitulikiti zonna mu ggwanga basabye akakiiko Pulezidenti ke yassaawo okulwanyisa obulyake akakulirwa Lt. Col. Edith Nakalema okulongoosa ku ngeri gye kakwatamu be bateebereza okubera abakenuzi.

Wa 350x210

“Tusiima enkola naye tusaba wabeewo obwenkanya eri be bakwata, tusaba obukambwe bukkakkanyizibweko,’ ssaabawandiisi w’ekibiina kino Gertrude Rose Gamwera bwe yasabye.

Baabadde ku mukolo gw’okulayiza abakulembeze baabwe abapya.

Yagambye nti abakwate beemulugunyizza olw’obutababuulira ne babeera n’ebiwandiiko bye beetaaga.