‘Abalamuzi mubeere beerufu mu nkola y'emirimu’

By Edward Luyimbazi

OMUMYUKA wa Ssaabalamuzi wa Uganda, Alfonse Owiny Dollo mwennyamivu olw’abantu abatakyesiga kkooti nga baziyita ez’abagagga n’akuutira balamuzi banne okubeera abeerufu nga bawozesa emisango.

Ma 350x210

Okwogera bino yabadde aggulawo olusirika lw’abalamuzi nga bakubaganya ebirowoozo ku nkola ya kkooti ey’okuwozesa emisango egiri wansi w’obukadde ekkumi ku ttendekero ly’ekitongole ekiramuzi e Nakawa.

Dollo yagambye nti abantu abamu balowooza nti kkooti zigendebwamu bantu bagagga nga kino kiva ku ngeri abalamuzi abamu gye bakwatamu emisango gyabwe n’agamba nti okusobola okumalawo endowooza eno, abalamuzi balina okwewala okubeera ne kyekubiira.

Dollo yasiimye omulamuzi Geoffrey Kiryabwire eyatandikawo enkola ey’okuwozesa emisango egiri wansi w’obukadde 10 nga teyeetaagisa bantu bawaaba misango kukozesa balooya era nga nnyangu ng’emisango giggwa mangu.

N’agamba nti singa Bannayuganda abaavu bagyettanira bajja kufuna obwenkanya.

Yeebazizza Kiryabwire olwa lipooti gye yafunye ng’eraga nti ssente z’amabanja ezisukka mu buwumbi 10 ze basobodde okutaasa mu nkola eno mu 2018 era kiyambyeko ku byenfuna by’eggwanga .

Omulamuzi Kiryabwire ssentebe w’enkola eno yagambye nti kati bawezezza emyaka musanvu bukya batandika nkola eno era abantu bagyettanidde.

Agambye nti abantu baali bakaaba enkola enkadde eya kkooti ng’abantu bwe baleeta emisango egirimu amabanja ga ssente eziri mu kakadde kamu kyali kitwala obudde bungi okugimaliriza era abamu ne bakomekkereza nga tebazifunye.

Wabula yategeezezza nti kkooti zikyali ntono ezikozesa enkola eno nga ziri 55 mu ggwanga lyonna.

Ate Lilian Bucyana omuwandiisi wa kkooti ezikola ku nkola eno agambye nti enkola eno eyambye abasuubuzi abamu kubanga bwe bazifuna okuva mu mabanja bazizzaayo ne baziteeka mu bizinensi zaabwe ekiziyamba okukula.