Omuvubuka akakkanye ku muganda we n'amutta.

By Musasi wa Bukedde

Ekikangabwa kigudde ku kyalo Kiyunga mu divizoni y’e Wakisi munisipaali y’e Njeru mu disitulikiti y’e Buikwe Steven Muchoro 25 bwakkakkanye ku muganda we Peter Mayera 22 n’amutta. Kati Muchoro aliira ku nsiko ne mukyala we.

BYA EMMANUEL BALUKUSA
 
Obutemu buno bwabaddewo oluvannyuma lwa Mayera okujja ewa Muchoro okubataawuluza mu lutalo ne mukyala we, Maureen Nekesa 22.
 
Jimmy Abubakari omutuuze yategeezezza nti obwedda Muchoro yeewerera oyo yenna anagezaako okuyingira mu nsonga zaabwe eza maka.
Mayera bwe yatuuse okubataawuluza Muchoro yakutte ettoffaali n’alimukuba mu kifuba nagwa ku ttaka.
 
Taata w’omugezi, Richard Kisoro yagambye nti baayise omusawo okuyamba ku Mayera naye we yatuukidde ng’afudde.
 
Yafeesi Massa omu ku batuuze yagambye nti obutemu buno buvudde ku bantu bano kukozesa bitamiiza.
 
Mu kiseera kino adduumira poliisi y’e Njeru Christopher Ruhunde yagambye nti batandise omuyiggo ku Muchoro ne mukyala we Nekesa.