Ab'e Lwabenge balaajanidde poliisi ku babbi b'ebisolo

By Ssennabulya Baagalayina

Ssentebe wa LCIII, David Ssegawa yakangudde ku ddoboozi n'anenya poliisi nti y'eremeddwa okubawonya ababbi ne yeebuuza engeri gye bayisaawo ente ze babbye ku mugga Katonga nga tewali abakuba ku mukono ng’ate poliisi we yassa emisanvu gyayo okubatangira okubba.

Lwabengelciii15 350x210

ABAKULEMBEZE b'eggombolola y'e Lwabenge mu Kalungu balaajanidde poliisi ebataase ku babbi b'ebisolo naddala ente ababasuza ku tebuukye.

Bakissa ku poliisi nti ababbi ebakwasizza kyejo kuba omunyago bagutambuliza mu makubo ate omuli emisanvu gy'abaserikale abalina n'emmundu.

Obweraliikirivu buno babulagidde mu lukiiko lw'eggombolola mwe bateeserezza ku nsonga eziruma Bannalwabenge n'ebinaagitwala mu maaso.

Lwetabiddwamu omubaka omukyala owa Kalungu mu Palamenti, Aisha Ssekindi era Munnalwabenge.

Ssentebe wa LCIII David Sseggawa yakangudde ku ddoboozi n'annenya poliisi nti y'eremeddwa okubawonya ababbi abakafudde akamanyiiro k'ojukijjannya abatuuze be.

Ssentebe wa LCIII, David Ssegawa yakangudde ku ddoboozi n'anenya poliisi nti y'eremeddwa okubawonya ababbi  ne yeebuuza engeri ababbi bye bayisaamu ente ze babbye ku mugga Katonga nga tewali abakuba ku mukono ng’ate poliisi we yassa emisanvu gyayo okubatangira okubba.

"Abatuuze bajja kwenyiwa ng'olukwata omubbi bamwekolerako ate olwo Poliisi ebayiribye nti baatwalidde amateeka mu ngalo so nga y'ebatuusizza kwekyo", Sseggawa bwe yakkaatirizza.

Ku birala ebisomooza eggombolola, Sseggawa yaggyeyo obutono bwa ssente ezikola emirimu n'asaba  abakiise okussa ekimu ku nguudo ze baawaddeyo eri disitulikiti okuzibayambako.

Yabasabye okukwatagana n'aba LC z'ebyalo mu kulung'amya abatuuze n'okubakubiriza okukola ennyo nti eggombolola lw'ejja okukulaakulana.

Abakiise beemulugunyizza olwa ssente zaabwe ez'akasiimo okuva mu Gavumenti nti ate aba Disitulikiti baazikekyuddeko ne baweebwa bitundu nga beekwasa nti zaasaliddwaako emisolo.

Basabye omubaka abatuusize eddoboozi eri abagaba endokwa z'emmwaanyi nti mu Elite babakyusizeemu eza Cutting, Ssekindi n’asuubiza okubawa endokwa zino  naye n'abasaba bakubirize abatuuze obutonoona zibaweebwa.