Afande, wadde omusajja ankubye nnyo musonyiwe!

By Musasi wa Bukedde

Afande, wadde omusajja ankubye nnyo musonyiwe!

Hab2 350x210

MWANAMUWALA Price Nuwarinjuna olwamaze okwesiwa amagengere n’atambula mpolampola ng’atagala adde eka. Yabadde yaakasimbula n’agwa mu mwala n’ajonjobala. Yasazeewo okuyitirako ewa muganzi we Muzeeyi Sulaiman Nkuubi 60 ow’omu Dobi Zooni anaabeko.

Olwatuuse Nkuubi n’afa essanyu ng’amanyi bagenda kunyumya kaboozi kyokka Nuwarijuna n’abigaana ng’agamba nti tali mu mmuudu. Muzeeyi Nkuubi yalemeddeko kyokka Nuwarinjuna n’agaana. Kino kyanyiizizza Nkuubi n’amukuba emiggo n’awulubala omubiri gwonna.

Nuwarinjuna ensonga yazitutte ku poliisi n’amuggulako omusango ku fayiro nnamba: SD REF: 10/08/08/2019.Nkuubi mu kwewoozaako yagambye nti omukazi ono muganzi we mu nkukutu ng’era atera okumukyalirako ne beesanyusaamu ng’era bba ye Ssanyu abeera e Mpererwe.

Kyokka Nuwarinjuna yategeezezza abaserikale nga bw’alinayo n’abasajja abalala baayiiya nga tabaagala bya ddala ne yeewuunya Nkuubi okumukuba ng’akimanyi bebbako bwebbi.

Kyokka yalabye Nkuubi bamuyingiza akaduukulu n’alaajana nti, Afande, wadde omusajja oyo yankubye nnyo, musonyiwe Kasita ampa ssente z’obujjanjabi. Ssanyu yagambye nti Nuwarinjuna yamutegeeza nga bwali mu bantu be ku ku Kaleerwe nga tamanyi nti ali mu bufumnbo