Nixon Agasirwe ayanise Kayihura ku mmundu za Kitatta

By Joseph Makumbi

Nixon Agasirwe ayanise Kayihura ku mmundu za Kitatta

Rab2 350x210

OFIISA wa poliisi Nixon Agasirwe alumirizza Gen. Kale Kayihura ku mmundu ezaakwatibwa ne Kitatta n'agamba nti za muserikale Kayihura gweyamulagira okusindika okukuuma Kitatta.

SSP Nixon Agasirwe Karuhanga 46, omutuuze wa Municipaali ya Kira, yabadde mujulizi wa kutaano ku ludda lwa Kitatta. Yagambye nti yabadde agenze mu kkooti okugiyamba okugonjoola omusango gwa Kitatta.

Yasoose kukuba kirayiro oluvannyuma naagamba nti, yabadde agenze okunnyonnyola ku muserikale wa poliisi Ngobi Sowali wabula byonna byetoloolera ku Kitatta.

Yategeezezza nti, wakati wa 2009 ne 2010 obwegugungo obwaliwo nga Kabaka agaaniddwa okugenda e Bugerere, eyali omuduumizi wa poliisi Gen. Kale Kayihura, yamulagira okuwa Kitatta obukuumi. Obukuumi bweyamulagira bwali bwakusindika baserikale abasobola okumukuuma.

Yagambye nti, ye ne Kitatta baali tebasisinkanangako gwegwali omulundi ogusooka okumulaba. Yasindikayo omuserikale gwajjukirako erya Meddie lyokka oluvannyuma eyaggyibwayo naasindikayo omulala gwajjukirako erya Benono.

Mu kiseera kino agamba nti, yeyali akulira ebikwekweto mu kitongole kya Rapid Response Unit (RRU) nga batuula Kireka kati awali SID. Agamba nti, ku nkomerero ya 2010 yaweereza Sgt. Allan Matsiko naamuwa n’emmundu bbiri okuli AK47/SMG eyali amasasi 30 ne Pisito ng’erimu amasasi 08.

Mu 2012, baamukyusa nebamuggya mu RRU nebamusindika okukulira Flying Squad. Sgt. Matsiko naye naamugoberera. Oluvannyuma yasindikibwa ku missoni e South Sudan naamalayo emyaka ebiri naaleka nga Matsiko yakuuma Kitatta ng’abamuddidde mu bigere (Charles Kataratambi) eyaddawo okuduumira Flying Squad nga y’amuvunaanyizibwa.

Mu December wa 2014, yakwasibwa okuduumira Special Operations Unit (SOU) era Matsiko naava mu Flying Squad neyegatta ku SOU.

Yagambye nti, oluvannyuma yalagirwa okwongera KItatta obukuumi naakizuula nti waaliyo omuserikale okuva ku poliisi ya Old Kampala Ngobi Sowali eyali yasindikibwayo edda. Sowali yava ku poliisi ya Old Kampala neyegatta ku SOU Nixon gyeyali akulira naamuleka nga yakuuma Kitatta.