Ab'ebyokwerinda bazudde bwiino ku wa UPDF eyattiddwa mu bubbi

By Joseph Makumbi

Ab'ebyokwerinda bazudde bwiino ku wa UPDF eyattiddwa mu bubbi

Web2 350x210

Pte. Bright Turyatunga bambega ba ISO okumukuba amasasi nga March 5, 2019 e Kyambogo ne munne eyategerekekako erya Eddie lyokka, bazooka kulumba basuubuzi b’e Kisoro Joseph Dushabe ne Boniface Harera nebabanyagako ssente obukadde 550.

Omu baamunyagako obukadde 100 ate omulala omusuubuzi w’omwenge n’amafuta nebamubbako obukadde 450 ku mudumu gw’emmundu mu December wa 2018.

Olwamala okubba ssente zino, baaziyiwa ku ttaka Turyatunga naazebakamu neyekubya ebifaananyi byeyasindikira mikwano gye e South Afrika.

Dayirekita wa ISO, Col. Frank Kaka Bagyenda yagambye nti, okunoonyereza kwabwe baakizudde nti, Turyatunga yali yateekayo dda empapula ng’asaba viza ya South Afrika era yali apanze okudduka mu ggwanga nga yakamala okubba emmotoka ya kkampuni ya G4S eyali etambuza ssente.

Yagambye nti, bwino batandise okumufuna era baagala kutuuka ku mikwano gya Turyatunga gyeyaweereza ebifaananyi. Kisuubirwa nti, nabo balina kyebamanyi ku bubbi obw’emirundi esatu Turyatunga bweyenyigiramu.y’

Kaka agamba nti, Turyatunga era baakizudde nga yalina enkolagana eyamaanyi n’ekibinja kya Nixon Agasirwe n’abalala abali mu kkomera ly’amagye e Makindye era bebaamuggya mu kkomera bweyali akwatiddwa.

Omwogezi wa SFC, Jimmy Omara yategeeza nti, Turyatunga bweyadduka mu SFC, yakwatibwa poliisi mu bubbi ku luguudo lw’e Masaka nebamuyimbula ku kakalu kyokka naddamu okubba nebamutwala mu kkooti eyamusalira ekibonerezo naayimbulwa nga yakakikolako emyaka ena gyokka.

Kaka yagambye nti, ba Nixon bwebaamuggya mu kkomera, baayagala nnyo okumanya lwaki bamuggyeeyo kwekumusembeza mu ISO naabagamba nti waaliwo abaali bamulimirira nga bamutulugunya naabagamba nti ne Gen. Kale Kayihura yali amutulugunya. Yalumiriza n’abamu ku bakulu mu SFC nti bamusibako emisango gyatazza.

Kaka yagambye nti, olumu yabwa nga amawulire ku bamenyi b’amateeka ng’olumu gaba matuufu naye ebiseera ebisinga amawulire geyali abawa baakizuula nti gaali mafu. Yagaseeko nti, bwebakizuula nti abalimba kwekutandika okumunoonyerezaako.

ISO okuzuula ebikwata ku Turyatunga, yasoose kukwata Alfred Wambuyi agambibwa okuteeka kalifoomu mu nnyama n’omwenge abakuumi abaali bakuuma ssente byebaalya. Kaka Yagambye nti, omuyiggo ku babbi bonna gukyagenda mu maaso.