Omuwala bamusobezzaako ne bamutta e Bukalango

By Musasi wa Bukedde

OMUWALA omulala e Wakiso bamusobezzaako oluvannyuma ne bamutta! Ekikangabwa kino kyagudde ku kyalo Bukalango omuwala ow’emyaka 17, bwasangiddwa ng’attiddwa.

Mwana 350x210

Abatuuze baasoose kuwulira kivundu n’okulaba ensowera ezaabadde ziva mu nnyumba eyabadde tennaba kuggwa, era olwagiyingidde, amaaso gagukidde ku mulambo gwa Fatuma Nabalanze.

Embeera y’omulambo yabadde eraga nti yandiba ng’abaamusse baasoose kumusobyako kuba gwabadde gwambuddwa nga ku bbali waliwo amacupa ga bbiya n’obuveera bwa walagi.

Poliisi okuva e Kakiri yazze n’eggyawo omulambo ogwabadde guvaamu ekivundu era ng’abatuuze baagambye nti baakoma okulaba omugenzi ennaku ssatu emabega.

Ennyumba mwe battidde Nabalanze ya kitaawe George William Ssekagudde.

Omuwala mu nnyumba abadde abeeramu yekka okuva kitaawe Ssekagudde lwe yasindikibwa mu kkomera nga kigambibwa nti takisi ye yali ekozesebwa mu kubba abasaabaze ababa bagirinnye.

Ssentebe w’ekitundu, Matia Jemba yavumiridde ettemu eryakoleddwa n’agamba nti libadde lirudde okulabikako mu kitundu kino.

Jemba yategeezezza nti omuwala ono abadde atambula n’abavubuka ab’enjawulo era kisuubirwa nti kwe kwavudde abaamusse.

Abavubuka abamu ku babadde atera okutambula nabo bamanyiddwa ku kyalo nti banywi ba njaga.

Yagambye nti ayogedde ne poliisi y'e Kakiri ng’ayagala bakole ebikwekweto mu kitundu bayoole abavubuka abakyamu, kyokka tebafaayo.

Esther Nabulya 70, jjaja w’omugenzi yategeezezza nti yali asula naye mu nju. Kyokka oluvannyuma yeewaggula n’atandika okusula mu nnyumba ya kitaawe.

“Mbadde ndudde okumulaba era bwe namubuuza ambuulire gy'abeera, yanziramu nti abeera ne mikwano gye,” Nabulya bwe yategeezezza.

Ssentebe wa Kakiri Town Council, Muhammad Kisekka yalabudde abazadde obutakkiriza baana kubeewaggulako ne batandika obulamu obwabwe nga bakyali bato.

Yanenyezza nnyo poliisi ye Kakiri obutakola bikwekweto kuyoola bavubuka bakirereesi ku kyalo abamala obudde nga banywa enjaga ate ne batulugunya abantu obudde bw’ekiro.

Omuduumizi wa poliisi y'e Kakiri, Ibrahim Kapchemut yagaanyi okubaako ky’ayogera ku ttemu lino.