Ochola afuumudde abaserikale abasula ku kitebe e Kibuli

By Musasi wa Bukedde

OMUDUUMIZI wa Poliisi mu ggwanga, Martin Okoth Ochola agobye mbagirawo abaserikale bonna abasula ku kitebe kya bambega e Kibuli.

Genda 350x210

Ekiragiro kino Ochola yakiwadde ku mukolo gw’okuggalawo omusomo abaserikale abanoonyereza ku buzzi bw’emisango gwe baabaddemu nga babangulwa ku ngeri gye basobola okuzuula ebiwandiiko ebijingirire ogwabadde e Kibuli ku Lwokuna oluvannyuma lw’abakulira okutendeka abanoonyereza ku buzzi bw’emisango okubaako ebintu bye baamusabye okuteereza n’okubakolera.

Ochola yagambye nti bwe yali yaakalondebwa ku kifo ky’omuduumizi wa poliisi yasisinkana Pulezidenti Museveni n’amulagira okutereeza n’okwongera amaanyi mu kitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango n’ekitongole ekikessi nga kino yakitandika dda.

Yagambye nti ekitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango ekituula e Kibuli yasalawo kibeere ekijjuvu nga kiriko ettendekero we basobola okubangulira abanoonyereza ku misango n’okukozesa buli kizimbe ekiriko ng’abaserikale ababadde basulamu balina okuggyibwamu batwalibwe mu nkambi endala.

“Njagala okubategeeza nti ekitongole kyaffe ekinoonyereza ku misango ekituula e Kibuli kibeere nga kyemalirira era n’okukisitula omutindo era abaserikale bonna ababadde basulamu mpadde ekiragiro baveemu,” Ochola bwe yategeezezza.

Yagambye nti ettendekero eriteereddwa e Kibuli lirina okukozesebwa mu kutendeka abanoonyereza ku misango basobole okufuna obukodyo obupya bwe baneeyambisa mu kukola emirimu kuba n’abeenyigira mu misango gino bazze bakyusa obukodyo.

Bbo abaserikake ababadde mu kitendekebwa yabalagidde okuteeka mu nkola bye basomeseddwa naddala okwetegereza ebiwandiiko abantu bye bakozesa mu kutambula omuli passport, Viza, densite wamu ne ssente kuba bye bimu ku bisinze okujingirirwa abamenyi b’amateeka omuli abatujju abakukusa enjaga n’ebiragala, abakukusa ebisolo n’ebirala.

Akulira ekitongole ekinoonyereza ku misango, Grace Akullo yagambye nti abamenyi b’amateeka ebiwandiiko bye bajingiridde babikozesezza okugenda mu mawanga ag’enjawulo ne bakwatibwa ne bategeeza nga bwe bavudde e Uganda nga bwe babuuzibwa ebisingawo ne batamattama nga kyazuuliddwa nti abamu kubo si Bannayuganda nga baakwatiddwa mu ggwanga lya China.

Abaserikale 82 be baatendekeddwa abakugu okuva ku kitebe ky’eggwanga lya Amerika mu Uganda.