Abakyala munyikire okukola mukomye okulinda ensimbi z'akameeza

By Musasi wa Bukedde

Minisita Sseninde akubirizza abakyala banyikire okukola bakomye omuze gw'okulinda ensimbi z'akameeza

Minisitassenindengayogerakumukolo3 350x210

 Bya TONNY KAYEMBA

MINISITA omubeezi ow'ebyenjigiriza ebisookerwako, Rosemary Sseninde asabye abakyala okunyikira okukola  bakomye muze  gw'okulinda ez’akameeza, abasajja ke babalekera nga n'olumu tekawera.

Ono asabye n’abakulembeze okubeera ekyokulabirako eri abantu be bakulembera nga bakola ebyo ebisaanidde mu kitundu wamu n’okukomya ebyobufuzi ebivvoola abantu be batafaanagana mu ndowooza naddala ez'ebibiina byobufuzi wabula bakolere abantu be bakiikirira.

 Sseninde bino yabyogeredde ku ssomero lya Tropical Nursery and Primary School e Najeera, abakyala ba Divizoni y'e Kira bwe baabadde bakuza olunaku lwabwe olwategekeddwa abatwala Divizoni eno nga bakulembeddwaamu Minisita w'e kikula ky'abantu, Jenipher Nakitende nga ye kansala omukyala akiikirira ekitundu kino ku Divizoni y'e Kira mu Munisipaali y'e Kira.

 Omukolo guno gwetabiddwaako abagenyi ab’enjawulo abakulembeddwaamu abalala omuli omubaka wa Munisipaali y'e Kira Ibrahim Ssemujju Nganda, Jimmy Lukwago Maneja wa Kira Young, Gerald Kzito Ssentebe wa Kira Divizoni, Godfrey Nsubuga Omumyuka wa Meeya w'e Kira bakansala, abakyala okuva mu byalo e 17 ebikola Divizoni eno wamu n’abakulembeze ku bukiiko bw'ebyalo.

Abakyala baayoleseza ebintu ebyemikono bye bakola kw’ossa okwolesa mu katemba, okuyimba ne n’amazina.

 Ye omubaka wa Munisipaali y'e Kira, Ibrahim Ssemujju Nganda yeebazizza abakulira Divizoni y'e Kira olw'okufaayo ne bakuza olunaku lw'abakyala lwe yagambye nti lwateekebwaawo okujjukira okubonaabona abakyala kwe bayitamu nga tebannasembezebwa ku mwanjo ng’ okulukuza buli mwaka kisaanidde.

 Yasabye abasajja okukomya omuze gw'okutulugunya abakyala n’okufaayo okulabirira amaka gaabwe bakome okugalekera abakyala ng'abamu tebamanyi na masomero abaana baabwe gye basomera olw'okuba baasulawo obuvunaanyizibwa bwabwe ng'abasajja ne bakola gw'akuzaala buzaazi nga tebalabirira baana.

 

Gerald Kizito Ssentebe wa Divizoni y'e Kira yasabye abakyala n’abavubuka okutandikawo ebibiina byokwekulaakulanya babitwale ku Divizoni basobole okufuna ssente z'okwekulaakulanya wabula n’asaba abo abaazifuna okufuba okulaba nga bazikozesa ebyo ebyazibaweesa basobole okuzizzaayo ne bannaabwe abalala basobole okuzifuna.