Tukuleetedde amannya 1800 aga bantu KCCA bebanja Busuulu

By Hannington Nkalubo

Tukuleetedde amannya 1800 aga bantu KCCA bebanja Busuulu

Top2 350x210

KCCA esitukidde mu bagagga omuli ne bannabyabufuzi ababanjibwa obusuulu bw’ebizimbe n’ebawa nsalessale wa wiiki bbiri zokka okusasula ensimbi ze babanjibwa oba ssi ekyo egenda kusazaamu liizi zaabwe.

Akola nga dayirekita wa Kampala, Andrew Kitaka yafulumizza olukalala okuli ebizimbe 1844 , enguudo kwe bisangibwa ssaako ssente ezibabangibwa ku buli kizimbe.

Ekiwandiiko kye yafulumizza yalaze nti obukwakkulizo bwe bakkiriza okutuukiriza mu budde bukkiriza KCCA okugolola omukono gwayo omuwanvu ne gutuuka ku liizi zaabwe okuzisazaamu era singa tebatuukiriza tteeka erifuga Kampala kye ligamba, liizi zaabwe zirugenze. Mu bamu ku bagagga abalangiddwa kuliko:lSimpson Birungi abanjibwa obukadde 10 ku kizimbe kye ekiri ku Kibuga Block 20.

Francis Drake Lubega obukadde 10 ku William Street.

Christine Nabukeera ebizimbe ku Nakivubo Road bukadde buna.

Collins House ku Pilkington House obukadde 13.

D.N MANALIA n’abalala mukaaga ku Market Street bamubanja obukadde 43.

David Luyiga ku Kafumbe Mukasa Road obukadde 16.

Dick Kizito ebizimbe ku nguudo ez’enjawulo obukadde 10.

Dr. Kefa Ssempangi ku Windsor Crescent obukadde busatu.

Edward James Baguma Kakonge obukadde 10 ku Moyo Lane.

Freddie Ruhindi lFlugence Mungereza ekizimbe ku Channel Close obukadde 10.

Gladys Alele Opio obukadde 33 ku Luthuli Avenue.

HAKS EXPRESS [U] Ltd obukadde 46 ku luguudo lw’e Nsambya.

John Bosco Muwonge obukadde 20 ku Nakivubo Road.

Moses Ndege Bbosa obukadde buna e Nakawa. lMusa Katongole ku Mackay Road obukadde 14.

Robert Mulinde ku Luwum Street obukadde busatu.

Nasser Kiingi ne Winnie Kalyesubula obukadde 16.

Patrick Bitatule Lake Drive Luzira obukadde 20.

Sam Kahamba Kuteesa kakadde kamu ku Akii Bua Road