Amagye gakutte basajja ba Bashir abalala ne baggalirwa mu buduukulu

By Musasi wa Bukedde

Bannamagye bongedde okukambuwala ng’ennumba bwe bongedde amaanyi mu kukwata ababadde abanene mu Gavumenti ya Bashir naye ali mu nkomyo.

Cdb3bf0545ec48048b968392bcd44a7ccx0cy3cw0w1023r1s1 350x210

Abadde minisita wa Bashir avunaanyizibwa ku nsonga z’omunda mu ggwanga, Abdelrahim Mohamed Hussein ne Ahmed Haroun eyakulemberako ekibiina kya 'National Congress Party' baggaliddwa.

Amawulire ga CNN gaategeezezza nti abakwate basuubirwa okuggulwako emisango gy’okulya enguzi n’okuvaako okufa kw’abeekalakaasi.

Abakwate nga bali wamu n’abadde mukama waabwe Bashir bonna baliko ekibaluwa ki bakuntumye ekyabayisibwako Kkooti Y’ensi yonna olw’ebikolobero bye bazza bakola mu kitundu kye Darfur.

UGANDA ENAABUDAMYA BASHIR

Minisita omubeezi ow’ensonga z’ebweru w’eggwanga, Henry Okello Oryem yagambye nti singa Uganda esabibwa okubudamya abadde Pulezidenti wa Sudan, Omar el-Bashir bajja kukkiriza.

Yategeezezza nti Bashir alina ebirungi bingi by'azze akola naddala okulafuubana okulaba ng’emirembe giddamu okubukala mu South Sudan.

Bashir eyawambiddwa amagye yeetaagibwa Kkooti y'Ensi yonna avunaanibwe emisango egyekuusa ku kittabantu n’olutalo olwali mu kitundu kye Darfur.