Ogw’abagambibwa okutta omwana ne bamuziika gujulidde

By Musasi wa Bukedde

KKOOTI e Wakiso eyongezzaayo okutuusa nga May 8, 2019 lw’enaddamu okuwuliriza omusango gw’abagambibwa okutta omwana ate oluvannyuma ne bamuziika mu nkukutu.

Genda1 350x210

Kino kyaddiridde omuwaabi wa Gavumenti mu musango guno, Emily Ninsiima obutalabikako olw’olusirika lw’abawaabi ba Gavumenti olugenda mu maaso.

Cotlida Namakula 68, Samewo Kiwanuka 34, Joel Kinalwa Kikuuno 33, ne Geoffrey Kawunde 38, be bavunaanibwa omusango gw’okutta omwana, Emmanuel Wasswa 15, oluvannyuma omulambo gwe ne baguziika mu nkukutu.

Ku kkooti eggulo, embeera yabadde ya kimpowooze ng’abavunaanibwa mu musango guno tebaaleteddwa ku kkooti okuva e Kigo gye baasindikibwa.

Omulamuzi wa kkooti ento e Wakiso, Esther Nakadama mu lutuula lwa kkooti olwaliwo nga April 3, 2019, yawalirizibwa okwongezaayo omusango okutuusa nga April 17, 2019 oluvannyuma lw’omuwaabi wa Gavumenti okumutegeeza nga Gavumenti bw’ekyanoonya obujulizi obulumika abavunaanibwa.

Jjajja wa Wasswa, Namakula ne batabani be basatu ne muwala we atannakwatibwa be bagambibwa okutulugunya Wasswa mu bukambwe okutuusa lwe baamutta oluvannyuma omulambo gwe ne baguziika mu nkukutu.

Kigambibwa nti ono yasooka kusibwa ku muti n’emiguwa oluvannyuma ne bamusiba bbulooka ku busajja bwe olwo ne batandika okumukuba okutuusa lwe baamutta.

Abatuuze baategeeza nti Wasswa baamukuba nga bamuteebereza okubba essimu y’omu ku batuuze ne 2000/= era bwe yegaana, jjajja we kwe kuduumira batabani be nga bakulembeddwaamu Kawunde ne batandika okumukuba.

Ettemu lino lyaliwo nga February 16, 2019 ku kyalo Bbaale mu Ggombolola y’e Masuliita mu disitulikiti y’e Wakiso.