‘Temwongeza bbeeyi ya nnyama ku nnaku enkulu’

By Moses Kigongo

Abatemi b'ennyama abeegattira mu kibiina kya, “Kampala Butcher Trader’s Association” (KABUTA) ekikulemberwa Sennabulya balabudde bannaabwe obutamala gongeza bbeeyi ya nnyama mu biseera bino ng’agamba nti tekikoma kulemesa bakasitoma baabwe kubagulako nnyama kyokka kireetawo n’okuvuganya okuteetaagisa okukosa entambuza y’emirimu gyabwe.

Kabuta2 350x210

 

ABATEMI b’ennyama balabudde bannaabwe abateekateeka okutondawo emidaala egimenya amateeka mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo wamu n’okweyambisa amayinja ga minzaani ag’ebicupuli  okubba bakasitoma babwe mu biseera by’ennaku enkulu (Paasika).

Bano abeegattira mu kibiina kya, “Kampala Butcher Trader’s Association” (KABUTA) ekikulemberwa Sennabulya (ssentebe waakyo) era balabudde bannaabwe obutamala gongeza bbeeyi ya nnyama mu biseera bino.  Yagambye nti kino  tekikoma ku kulemesa bakasitoma baabwe kubagulako  nnyama kyokka wabula kireetawo n’okuvuganya okuteetaagisa okukosa entambuza y’emirimu gyabwe.

“Tugenda kukolaganan’ebitongole byokwerinda okuli poliisi n’abakulira ebitongole ebirondoola omutindo gw’ennyama okukakasa nga bakasitoma baffe bafuna ebipimo ebituufu  mu ssente zaabwe n’okukakasa ng’obubbi bw’ebisolo  obutera okubalukawo mu biseera by’ennaku enkulu tebubeerawo  kubanga kizuuliddwa ng’abamu ku bannaffe abatera okutondawo emidaala egy’ekimpatiira mu biseera bino be babusibyewo,” Ssenabulya bwe yategeezezza ng’ayogerako eri bammemba b’ekibiina kya KABUTA abakkaanyizza ku ky’okutunda ennyama ku miwendo egifaanagana mu biseera bya Paasika.

Yabyogeredde ku ofiisi z’ekibiina kino e  Wandegeya ku Lwokusatu era wano abakinjaaji we bakkaanyirizza okutunda ennyama ku bbeeyi ey’awamu (wakati wa 12,000/- ne 13,000/-).