‘Nze ne mmami tuli ku bunkenke’-Muwala wa Bugingo

By Josephat Sseguya

‘Nze ne mmami tuli ku bunkenke’-Muwala wa Bugingo

Bug2 350x210

MUWALA w’omusumba Aloysius Bugingo alaze kitaawe bw’ayolekedde okubaleetera obuzibu ng’abuzaabuza ettaka ly’ekkanisa ekijja okutabula endiga zirowooze nti aba famire bonna beekobaana okulitwala.

Doreen Bugingo 27, eyasangiddwa mu dduuka lye erya sipeeya wa mmotoka mu kifo ekimanyiddwa nga K zone e Makerere eggulo, yategeezezza nti ye ne nnyina bali ku bunkenke obuva ku ndiga mu kkanisa ya House of Prayer Ministries International e Makerere ezirowooza nti ettaka lyazo aba famire baalibba.

Wadde ettaka lyawandiisibwa mu mannya ga Bugingo, Doreen ne Teddy Naluswa Bugingo mukazi wa Paasita Bugingo ku biwandiiko baliko nga abajulizi ekitegeeza nga nabo bavunaanyizibwa. Doreen agamba nti ekizibu kiri nti omusumba alina bingi by’akola yekka nga teyeebuuzizza ku famire ye ate nga nabo bavunaanyizibwa kyenkanyi.

Wano kwe kugamba nti, okuvaayo okwogera mu mawulire tebaagala kulaga nga bwe batalina mmizi, wabula okwetaasaako abalokole b’ekkanisa eyo abamu abalaba ebintu bino nga bitambula bubi ate ng’olukongoolo tebalussa ku Bugingo yekka wabula ne ku muwala we Doreen ne nnyina.

Obutakkaanya okusinziira ku Musumba Bugingo, busibuka ku ye okwagala okwongera ku muwendo gw’abantu ekkanisa eyo n’ettaka mwe byawandiisibwa, agatteko omuyambi we Francis Mutaawe era gw’atwala nti y’amuddirira mu bukulu bw’ekkanisa wabula nti Doreen ne Teddy kino bakiwakanya era nti baamutwala ne mu kkooti.

Bugingo agamba nti ekkanisa ya balokole bonna si famire ye era awo we yasinziira n’okugoba bombi mu kkanisa. Doreen agamba nti ayagala nnyo eby’emmotoka nga kwe yasinziira okutandika okutunda sipeeya waazo nti era eby’ekkanisa yabivaamu ng’embeera etabuse kitaawe bwe yatandika okwefuula.

Doreen yagaanyi okwogera ku muwala akola ne Bugingo agambibwa nti ye yaleeta embeera y’okutabuka kwa kitaawe ne nnyina. Mukyala wa Bugingo ayise bba akomewo eka Mukyala wa Bugingo naye alemeddeko n’ategeeza nti teri kwawukana nga Bugingo takuhhaanyizza bantu bonna abaaliwo ku mbaga yaabwe.

Teddy Naluswa Bugingo eyasangiddwa mu maka gaabwe e Kitende ku lw’e Ntebe yagambye nti, bba yamusaba baawukane ye n’agaana kwe kutandika okumutiisatiisa nti agenda kumuwaayiriza nga bw’ayagala okubba ettaka ly’ekkanisa. Agambye ye talina buzibu na bba era ayagala akomewo awaka kubanga yamusonyiwa. Yagambye nti Bugingo yafuuka nnakyemalira tayagala kuwabulwa ku buli nsonga