Abawala ba ddigi beesomye

By Musasi wa Bukedde

Abawala ba ddigi beesomye

Kab2 350x210

MWANAMUWALA Swanswi Sambo, avugira mu mutendera ogwokusatu, aweze okuliisa Sharifah Kateete enfuufu, mu mpaka za ddigi eza laawundi eyookuna ku Ssande, e Garuga.

Sambo akyali mupya mu mpaka zino naye y'omu ku bavuzi abeekoledde erinnya mu kufufuggaza abeeyita bakaliba, era agamba nti ku luno ayagala kufaafagana ne Kateete.

Yagambye nti obubonero 5 bwokka Sharifah bw'amusingako era agenda kumutuuka ate amuyise, kyokka ne Kateete yamuzzeemu nti teyeeyibaala kuba agenda kumukubisa bumanyirivu. Empaka zaakulagibwa layivu ku Urban TV eri wansi wa Vision Group efulumya ne Bukedde