Bugingo agasimbaganye ne Teddy ku Poliisi

By Musasi wa Bukedde

Mukyala wa Paasita Aloysius Bugingo, Teddy Naluswa agenze ku poliisi e Katwe ne yeeyanjula ku musango gwe yaloopa ogw’okumutulugunya mu maka.

Deb2 350x210

Mukyala wa Paasita Aloysius Bugingo, Teddy Naluswa agenze ku poliisi e Katwe ne yeeyanjula ku musango gwe yaloopa ogw’okumutulugunya mu maka.

Kyokka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano Lucas Owoyesigyire yagambye nti, n’Omusumba Bugingo naye yagenze ku poliisi y’emu mu ofiisi ekola ku nsonga z’amaka n’abaana era bombi ne mukyala we ne babatuuza buli omu n’annyonnyola ensonga ze.

Yagasseeko nti, omusango Naluswa gwe yaloopa ku poliisi e Kajjansi omwezi oguwedde, fayiro yasindikibwa e Katwe era Naluswa yabadde agenzeeyo okukebera engeri omusango gye gutambulamu ne basisinkanayo ne bba.

Kyokka Paasita Bugingo abasasi ye tebaamulabye bw’ayingira wadde we yafulumidde.

Naluswa yatuuse ku poliisi e Katwe ku ssaawa ttaano ez’oku makya nga yagendedde mu mmotoka ekika kya Premio nnamba UA V 001R era nga ye yabadde yeevuga.

Wabula kyamutwalidde eddakiika nga 10 nga yennyonnyolako eri abaserikale abakuuma ku ggeeti abaasoose okumugaana okuyingiza mmotoka ye kyokka oluvannyuma lwa Naluswa okubaako gw’akubira essimu baamukkirizza okugiyingiza.

Naluswa yasooka kuggulawo musango gw’obutabanguko mu maka, okumutiisatiisa okumutuusaako obulabe n’obutamulabirira SD: 51/05/04/2019 ku Paasita Bugingo ku poliisi y’e Kajjansi.