Abalamuzi mu nsi za Afrika 5 basisinkanye

By Musasi wa Bukedde

HENRY Peter Adonyo akulira ettendekero ly’abalamuzi akubirizza abalamuzi ba Kkooti Enkulu okwenyigiranga mu misomo egiba gitegekeddwa n’omulamwa gw’okwongera okubabangula ku ngeri amateeka gye gakyuseemu.

Kuba1 350x210

Okwogera bino yabadde mu kuggalawo omusomo gw’abalamuzi ogwabadde e Munyonyo nga guli ku mulamwa gw’okwongera okutumbula obwenkanya naddala mu nsala y’emisango.

Omusomo guno gwetabiddwaamu abalamuzi okuva mu nsi za Afrika ttaano okwabadde; South Sudan, Kenya, Sierra Leone, Tanzania ne Uganda.

Adonyo yagambye nti, emisomo gy'engeri ng'eno giba gigenderedde okusobozesa abalamuzi okuwaanyisiganya ebirowoozo buli omu n'ategeera enkola y’emirimu mu mawanga ag’enjawulo nga buli omu asobola okumanya obuzibu omulala bw’ayitamu mu nkola y’emirimu gye.