Bannayuganda abakolera e Boston mu Amerika babanguddwa

By Hannington Nkalubo

BANNAYUGANDA mu kibuga Boston mu Amerika bongedde okulaga obumu n’okulumirirwa omutima gwa Uganda bwe beegasse ne basomesebwa ku ngeri gye bayinza okukulaakulanya ensi yaabwe.

Majoba3 350x210

Bakiriziganyizza nti buli munnayuganda alinayo emikwano mu America egisendesende okusobola okuyambako okukulaakulanya eggwanga lyaffe nga baleeta ssente n’okuyamba abali mu buzibu.

Omu ku bakwanaganya enkola eno Mw. Musa Majoba enzaalwa y’eMukono kyokka ng’alina n’amaka mu Kampala yategeezezza nti ku lukomo lwa ssimu nti amaanyi bagenda kusinga kugassa ku kuyamba abali mu bwetaavu naddala abalwadde ba kansa, emitima ,okuwa abaana sikaala, okuyamba ku mirimu gya Kabaka wa Buganda saako okuwagira ebibiina nga ebya Rotary ebigatta abantu abangi.

Majoba yagambye nti baatandika dda okukola emirimu egyenjawulo nga okulwanirira bannayuganda abali ebweeru w’eggwanga nga bayita mu Ugandan Whistle blowers association okulaba nga tebatuusibwaako bizibu era ebintu babikola mu mateeka.

Majoba yagambye nti bangi ku bannayuganda bwebatuuka ebweeru beerabira okukomyaawo ssente mu nsi yaabwe ekintu . “twagala abantu baleete ssente mu ggwanga. Bajje bagule ettaka bazimbe amayumba, bakole faamu n’okusitula famire zaabwe” Majoba bweyagambye.

Yategeezezza nti nabo bateekwa okwenyigira mu kuwagira emirimu gy’obwa Kabaka okulaba nti busituka ate balowooze ne kukukomawo ekka okulaba ebyaalo gyebazaalibwa n’abantu be baaleka mu bitundu bwe bafaanana ne webatuuse nabo mu kwekulaakulanya.

Yagambye nti bangi abaasigala mu Uganda baagaggawala ate abalala baavu beerya nkuta nti munnayuganda abeera mu Amerika bwatunuulira embeera y’abantu be afuna ekifananyi ekirungi wa waasobola okutandikira n’okukola.

Bammemba mu lukiiko baamuwagidde ne bategeeza nti abamu baatandika dda okuwagira emirimu egyenjawulo mu ggwanga naddala egy’obwakabaka era ne bakkiriziganya okweyongera singa naye ayongera okubakwanaganya.