Bannayuganda e Bungereza bakuzizza olunaku lw'Abajulizi

By Musasi wa Bukedde

Bannayuganda abeegattira mu kibiina kya Uganda Croydon Catholic Community ekisangibwa e Croyodon mu South London bajaguzza olunaku lw'Abajulizi nga 09/06/2019.

Img20190611wa0350 350x210

Ab' e Bungereza bajaguzza olunaku lw'Abajulizi ba Uganda nga 09/06/2019. 

Bannayuganda abeegattira mu kibiina kya Uganda Croyodon Catholic Community ekisangibwa e Croyodon e South London omukolo baakuzizza olunaku lw'abajulizi ng'omukolo gwatandise n'ekitambiro kya mmisa eyakulembeddwaamu Rev. Fr. Henry Mukasa wamu n'abasoosoodooti bangi okuva mu bigo ebyenjawulo.

Omukolo guno era gwetabiddwaako n'omubaka wa Uganda mu Bungereza, ambaasada Julius Peter Motto wamu ne Meeya w'ekibuga Croyodon, Humayun Kabir.

Mu kwogera kwe, Fr. Mukasa yakuutidde Bannayuganda okubeera obumu, okuba abeerufu mu buli kye bakola n'okukulembeza Katonda nga balabira Ku bajulizi abaafiirira eddiini yaabwe.

Ye ssentebe w'ekibiina kino, Robert Mpiima Mugambe yakubidde Meeya omulanga okubayambako okubuulirira abaana beewale ebikolwa  ebikyamu omuli okufuuweeta enjaga, okwefumita ebiso, okikozesa ebiragalalagala wamu n'ebirala ebigwa mu kkowe eryo.

Meeya yasanyukidde enteekateeka z'ekibiina ne yeeyama okukwataganyiza awamu nabo n'ayongerako nti waakuwanika bbendera ya Uganda Ku lunaku lw'okukuza ameefuga ga Uganda okwongera okunyweza enkolagana egunjiddwaawo olwo n'ayita akakiiko k'ekibiina kino wamu ne ambaasada ku kijjulo makeke bongere okwogera.

Ye omubaka was Uganda mu Bungereza yasiimye Meeya olw'enkolagana gy'ataddewo ne Bannayuganda n'akubiriza abazadde okufisizzaawo abaana akadde bababuulirirre.