Muwala w’omugagga Muzzanganda alaze amasappe ng’ayanjula bba

By Musasi wa Bukedde

Muwala w’omugagga Muzzanganda alaze amasappe ng’ayanjula bba

Muz1 350x210

MUWALA w’omugagga Mukiibi Muzzanganda yacamudde abagenyi bwe yayingiddewo mu maka g’abakadde be mu nnyonyi ya nnamunkanga, abeekyalo ne banyeenya emitwe.

Omukolo guno gwabadde ku kyalo Nkulagirire mu Town Council y’e Nakifuma mu Mukono, gye bazaala omugagga Muzzanganda. Omwogezi w’oku ludda lw’omuwala, Isa Musoke yasoose kutegeeza bagenyi nti omwana omuwala Aidah Nabukalu eyabadde nnyini nsonga, yabadde agenzeeko mu saluuni kumutereeza nti kyokka ekiseera kyonna atuuka.

Waayiseewo akaseera katono abantu ne bawulira ennyonyi gye baasoose okulowooza nti eri ku makubo gaayo wabula baagenze okulaba ng’ekka mpola okumpi n’awaabadde omukolo olwo ebintu ne bisooka bicankalana ng’abatuuze baagala kusooka kwerabira ku nnyonyi.

Oluvannyuma omugole yavuddemu ng’amyansa bumyansa n’ayanirizibwa mikwano gya kitaawe abaakulembeddwa omukungu Freeman Kiyimba.

Omukolo gwagenze mu maaso wakati mu ssanyu ng’abagagga bangi n’ebikonge eby’enjawulo baagwetabyeko. Bba wa Nabukalu gwe yayanjudde ye Isma Waddimba omusuubuzi mu Kampala era omukolo guno abayimbi abawerako baasanyusizza abagenyi