Obwakabaka bulonze omumyuka wa Cansala wa Muteesa Yunivasite

By Musasi wa Bukedde

Obwakabaka bulonze omumyuka wa Cansala wa Muteesa Yunivasite

Ban2 350x210

Obwakabaka bwa Buganda bulonze omumyuka wa Cansala wa Mutesa 1 Royal University . Eyalondeddwa ye Polof. Vincent Kakembo nga y’amyuka Cansala Omulamuzi Julia Ssebutinde.

Yunivasite eno yabbulwamu Ssekabaka Muteesa asooka olw’okujjukira awamu n’okusiima omulimu omukulu gwe yakola okuyita Abazungu okujja okuyigiriza abantu be okusoma n’okuwandiika Polof. Vincent Kakembo abadde asomesa mu Nelson Mandela Yunivasite mu South Afrika.

Yunivasite eno gyeyavudde nayo yabbulwa mu musajja enkwatangabo mu nsonga ez’okulwanirira eddembe ly’obuntu awamu n’okulwanyisa obusosoze mu bantu.

Omukolo gwabadde ku kitebe ekikulu ekya Yunivasite e Kirumba Masaka era nga gwakulembeddwaamu Minisita w’ebyenjigiriza, eby’obulamu, enkulaakulana y’abantu, Dr. Prosperous Nankindu Kavuma