Omulwadde amugobesezza ku kyalo

By Musasi wa Bukedde

Omulwadde amugobesezza ku kyalo

Deb2 350x210

Abatuuze b’omu Banda Zooni mu Makerere lll nga bali ne ssentebe waabwe bagobye mutuuze munnaabwe Mary Nansubuga ku kyalo lwa kutulugunya omulwadde gwe bamulumiriza okukuba n’okumumma emmere.

Nansubuga bamulumiriza okudda ku mulamuwe Jane Kusasira omulwadde n’atandiika omutulugunya ng’amukuba emiggo nga kwatadde n’ensambagere n’obutamuwa kya kulya kyokka ng’ali ku ddaggala lya siriimu nga bagamba nti alinga ayagala okumutta.

Bwe baamaze okusalawo okumugoba ku kyalo, abatuuze nga bali ne ssentebe waabwe Moses Mukule baamuloopye ku poliisi y’e Wandegeya nga bagamba nti babadde tebayinza kumulinda kutta muntu kwe kusalawo ensonga bazikwase ku poliisi era baasabye poliisi okumuyamba emutwale mu ddwaalirowaakiri gy’aba afiira naye mulamuwe amuyisa bubi nga kwatadde nokumulangira nti ye amutawanya si ye yamusiiga obulwadde Wabula Nansubuga yeegaanye ebimwogerwako n’ategeeza nga abatuuze bwe batamwagaliza.

Poliisi yategeezezza nti ekyagenda mu maaso n’okunoonyereza ezuule ekituufuAbatuuze b’omu Banda Zooni mu Makerere lll nga bali ne ssentebe waabwe bagobye mutuuze munnaabwe Mary Nansubuga ku kyalo lwa kutulugunya omulwadde gwe bamulumiriza okukuba n’okumumma emmere.

Nansubuga bamulumiriza okudda ku mulamuwe Jane Kusasira omulwadde n’atandiika omutulugunya ng’amukuba emiggo nga kwatadde n’ensambagere n’obutamuwa kya kulya kyokka ng’ali ku ddaggala lya siriimu nga bagamba nti alinga ayagala okumutta.

Bwe baamaze okusalawo okumugoba ku kyalo, abatuuze nga bali ne ssentebe waabwe Moses Mukule baamuloopye ku poliisi y’e Wandegeya nga bagamba nti babadde tebayinza kumulinda kutta muntu kwe kusalawo ensonga bazikwase ku poliisi era baasabye poliisi okumuyamba emutwale mu ddwaalirowaakiri gy’aba afiira naye mulamuwe amuyisa bubi nga kwatadde nokumulangira nti ye amutawanya si ye yamusiiga obulwadde Wabula Nansubuga yeegaanye ebimwogerwako n’ategeeza nga abatuuze bwe batamwagaliza. Poliisi yategeezezza nti ekyagenda mu maaso n’okunoonyereza ezuule ekituufu