Ab'e Kalule Luweero bakubiriziddwa obutalinda Gavumenti mu buli kimu

By Musasi wa Bukedde

Ab'e Kalule Luweero bakubiriziddwa obutalinda Gavumenti mu buli kimu

Kal1 350x210

ABATUUZE b'e Kalule mu Luweero bakubiriziddwa okuddamu okwettanira enkola ya bulungibwansi mu bitundu  byabwe.

Bino byayogeddwa Steven Biyinzika owa Steven Biyinzika Foundation mu kuyiwa ettaka okuziba ebinnya mu tawuni y'e Kalule, nga bino bibadde biregamamu amazzi ne galeeta obucaafu mu kifo  naddala we basiikira capati, chipusi, saluuni ne bizinensi endala.

Biyinzika Owensonga yabakubirizza obutalindanga gavumenti kubakolera buli kimu n'abasaba okulondanga abakulembeze abalina obusobozi okutuusa eddoboozi obutereevu mu be kikwatako mu govt okubakolera ku bibaluma ate abalina omutima ogukolera awamu n'abalala okweggya mu mbeera embi.

Ssentebe  w'Omuluka gw'e Kalule, Yahaya Kizito ng'ali wamu n'owa LC 1 mu tawuni y'e Kalule, Ronald Ssentalo ssaako Abdallah Zziwa ow'ekibiina ekiyambako ku  kulabirira abantu abalina obukosefukosefu (NYIMUPHAS) baasiimye Biyinzika olw'omutima guno ne beeyama okutambulira awamu n'abakulembeze ababayamba okugonjoola ebyetaago by'ekitundu