Abasawo balaze ekyasse omwana mu kisulo

By Musasi wa Bukedde

Abasawo balaze ekyasse omwana mu kisulo

Lol2 350x210

ABAZADDE baasoose kufuna lipoota y’eddwaaliro ly’e Lubaga ng’eyogera ku mulambo okuzimba feesi n’olulimi kyokka ng’eraga nti okufa kw’omwana kwavudde ku buzibu bwe yafunye mu lubuto n’akaluubirirwa okussa.

Aba famire tebaamatidde bulungi kubanga ebyabadde bibategeezeddwa ab’essomero byabadde tebivaayo bulungi mu lipoota era ne basalawo omulambo gusooke gutwalibwe e Mulago bafune lipoota endala ku kyasse omugenzi.

Dr. Sam Kalungi eyakulembeddemu okwekebejja omulambo e Mulago, lipooti gye yafulumizza yalaze nti okukaluubirirwa okussa kwe kwavuddeko omwana okufa. Ebbaluwa y’e Mulago eraga nti ekyasse omugenzi mu lulimi olw’ekisawo bakiyita ‘Emphysema’. Kino kibeerawo singa omuntu abeera nga tasobola kussa bulungi oluvannyuma lw’obisawo ebitereka empewo mu mawuggwe okwabika.

Ebisawo bwe byabika, omukka gwe tussa (oxygen) gukendeera era amawuggwe gaba tegakyasobola kugusaasaanya mu bitundu by’omubiri ebirala. Abasawo balaga nti ku bantu abamu babeera nabwo nga bulwadde era basobola okubeera mu mbeera eno okumala emyaka egiwera nga tebakimanyi.

Akamu ku bubonero kw’osobola okulabira nti oli mu buzibu obeera tosobola kussa bulungi era nga kino kigenda kikula mpola. Olumu buba buzaale ate olulala buva ku bintu ng’okunywa ssigala.