boogeraOmubbi ayingidde ekikomera e Kasubi n’asalaasala omutuuze

By Musasi wa Bukedde

boogeraOmubbi ayingidde ekikomera e Kasubi n’asalaasala omutuuze

Fut2 350x210

OMUBBI ayingiridde ekikomera e Kasubi mu Zooni II n’asalaasala omuvubuka wa yunivasite ebiso abatuuze ne bamutaayiza ne bamutta.

Zaabadde ssaawa 11:00 ku Lwokusatu ku makya, Allan Ajuna omuyizi ku yunivasite y’e Makerere ng’ava ku ssomero gye yabadde yasuze, ng’ayingira ekikomera, omuvubuka omu n’amuva emabega n’amussa ekiso ku bulago n’amugaana okubaako ky’ayogera ne bayingira bombi.

Ajuna olwamuyingizza mu muzigo mw’asula, omutemu n’amusiba emikono n’amagulu n’atandika okusiba buli kintu kye yabadde ayagala nga bw’amutiisatiisa nti bw’abaako ky’anyega ajja kumusalako obulago.

Omutemu mu bimu ku bye yapakidde, mwe muli essimu bbiri, laptop, n’ebintu ebirala. Bwe yamaze okusiba ebintu n’asaba ekisumuluzo kya geeti n’asitula ekisawo n’akissa ku mugungo afulume. Wabula Ajuna mu kiseera kino amagulu gaabadde gasumulukuse kwe kusamba oluggi ne lukuba omubbi n’agwa.

Ajuna yalayizza enduulu era abadduukirize baasanze agezaako okulinnya ekikomera adduke ne bamutaayiza ne batandika okumukuba okutuusa lwe baamusse. Poliisi we yatuukidde yasanze abatuuze tebasalirako musale kwe kutikka omulambo ku kabangali n’egutwala mu ggwanika e Mulago.

Peter Tamale ssentebe wa LC2 mu Kasubi yategeezezza nti, obubbi obulimu n’ettemu bungi ennaku zino nga businze kuva ku bavubuka abatayagala kukola ne balowooleza mu kunyaga.

Ono era yavumiridde eky’abatuuze okutwalira amateeka mu ngalo kuba kiviirako okulemesa poliisi okuzuula abamenyi b’amateeka abalala era n’awa abantu naddala abayizi ba yunivasite amagezi okuba abeegendereza nga batambula ekiro Abatuuze beekkokodde obubbi obususse mu kitundu kyabwe ne basaba Gavumenti ebateere kkamera mu kitundu kyabwe kuba zibadde zaakubayamba okuzuula ono eyattiddwa ne banne abalala be yabadde nabo