Abakolera ku nguudo z’omu Kampalabajaganya

By Musasi wa Bukedde

Abakolera ku nguudo z’omu Kampalabajaganya

Sab2 350x210

ABATEMBEEYI n’abayiwa ebintu ku nguudo mu Kampala basanyukidde ebbago ly’etteeka KCCA lye yabakoledde ne bategeeza nti kati emirimu gyabwe Loodi meeya Erias Lukwago agitereezezza.

Bagambye nti okuggyako obuwaayiro obutono obwassiddwa mu bbago lino, okusasula layisensi bakyanirizza era KCCA kati yeebasibye. Ku Lwokubiri loodi meeya yayise abasuubuzi bano ku City Hall bamuwe ebirowoozo ku ngeri bo gye baagala etteeka eribafuga likolebwe.

Olukiiko lwabaddemu n’ababaka ba palamenti okuli Betty Nambooze Bakireke, ne Moses Kasibante. Mu balala mwabadddemu meeya wa Lubaga Joyce Nabbosa Ssebuggwawo ne Sam Gombya omumyuka wa meeya wa Kampala Central. Mu lukiiko, bakkiriziganyizza nti basasule layisinsi ya 40,000/-. ate abayiwa ebintu ku nguudo basasule 60,000/-. Ssente zino za layisensi ya mwaka mulamba.

Baawakanyizza eky’okukkiriza abasuubula ebyamaguzi ku nguudo nga bwe kyabadde kiragiddwa. Kyokka KCCA n’ekalambira nga egamba nti waliwo abasuubuzi beemanyi obulungi nti bakozesa mmotoka ne bassaamu ebyamaguzi ne bazisimba ku luguudo okutunda kalonda owenjawulo.

Kisaliddwaawo nti abo basasule 498,750/- omwaka oba 236,250/- kwabo abakolera ebbali w’ekibuga. Abalagiddwa okukolera mu yinifoomu enzirugavu bawabudde nti langi eno esika nnyo omusana waakiri babawe kiragala.

Lukwago agambye nti ebbago likyali ku mutendera gwa kwebuuza ku buli akwatibwako era agenda kuyita ne bannannyini maduuka n’ebizimbe nabo bamubuulire bye baagala mu tteeka lino.

Yagambye nti mu nkola empya ayagala abagagga batandike okuzimba nga munda mu akeedi bassaamu ebifo bamufuna mpola mwe batundira ku ssente entono.

Wabula aba KACITA baalabudde KCCA ku kyavaako olutalo wakati w’abakolera ku nguudo n’abapangisa amaduuka nti ensonga ze ezimu era bagenderere nga bayisa etteeka eryo.

Issa Ssekitto yagambye tebasobola kukkiriza tteeka lireeta bantu kukolera ku mbalaza za maduuka gaabwe era bagenda kuliwakanya. KCCA yakola dda okunoonyereza nga eraga nti bagenda kusalawo ku nguudo ezimu eziwe abasuubuzi era mu zino mulimu olwa Ssebaana Kizito, Namirembe, Allen Road ne Nakivubo.